Ebikwasizza Kidandala e South Korea

Apr 24, 2024

MUNNABYABUFUZI Sulaiman Kidandala Serwadda eyaliko omumyuka wa Loodi Mmeeya era omuteesiteesi wa DP, oluvannyuma ne yeesogga NUP apooceza mu kkomera ekkakkali e South Korea, gye baamukwatidde mu ddiiru gye yabaddeko ne Bannayuganda abawerako.

Kidandala ne Bobi Wine.

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde

MUNNABYABUFUZI Sulaiman Kidandala Serwadda eyaliko omumyuka wa Loodi Mmeeya era omuteesiteesi wa DP, oluvannyuma ne yeesogga NUP apooceza mu kkomera ekkakkali e South Korea, gye baamukwatidde mu ddiiru gye yabaddeko ne Bannayuganda abawerako.
Kidandala baamukwatidde ku kisaawe ky’ennyonyi e Seoulne Bannayuganda abalala abagambibwa okusoba mu 10 nga kigambibwa nti yabadde abatutte kukuba kyeyo.
Omuwandiisi w’enkalakkalira owa minisitule y’ensonga z’ebweru, Vincent Waiswa Bagiire yannyonnyodde Bukedde eggulo nti amangu ddala nga Kidandala yaakakwatibwa, gavumenti ya South Korea yategeezezza Uganda mu butongole ng’eyita mu kitebe kya Uganda e Japan nga kye kikola ne ku nsonga za Uganda ne South Korea Kyokka Bagiire teyalambuludde misango gyennyini egyamukwasizza n’agamba nti kyabadde kyetaagisa obudde obuwerako okuddayo okwetegereza ate ng’obudde yabadde alina butono.
Bwe yabuuziddwa oba nga waliwo entegeka ezikoleddwa kulaba ng’ayimbulwa, yagambye nti kituufu waliwo okuwuliziganya nga bayita ku kitebe kya Uganda ekiri e Japan.
Kyokka tebalina kye bayinza kukyusa ku kibonerezo ekiyinza okuweebwa omuntu ng’azzizza omusango. Kye bayambako kwe kukakasa nga munnansi asimbibwa mu mbuga z’amateeka n’avunaanibwa omusango ogubeera gugambibwa nti yaguzza. “Kiringa omugwira bw’anatta omuntu mu Uganda n’alowooza nti ensi ye esobola okumulemesa okuvunaanibwa. Abeera alina kuvunaanibwa wano n’aweebwa kibonerezo ekirambikiddwa mu mateeka,” Bagiire bwe yagambye. Kyokka ensonda zaategeezezza nti ensonga ezaakwasizza Kidandala zeetooloolera ku kukukusa abantu n’abatwala e South Korea nga tebayise mu makubo matuufu. Omulimu gw’okutwala abantu ebweru w’eggwanga, mikwano gya Kidandala gyategeezezza nti aludde ng’agukola ng’eno bw’atamuza ebyobufuzi bye. Mikwano gya Kidandala egyasabye amannya gasirikirwe, gyagambye nti ku Lwokuna (enkya) lwa wiiki eno lw’azzibwa mu
kkooti.
Obuzibu bwe basanze kwe kuba ng’amateeka makambwe mu nsi eyo ate nga balina n’ekizibuky’olulimi.

Wadde ng’abamu bandyagadde okwekolamu omulimu bafune obuyambi bwe basindika, kyokka bakaluubiriziddwa nnyo.

Mu kiseera kino baasigalira kuweereza ssaala Mukama asobole okumusimattusa emisango gy’avunaanibwa era bakkiriza nti ku lw’ekisa kya Katonda ajja kugiyitamu

 

Sulaiman Kidandala yaani?  

Sulaiman Kidandala Sserwadda ye mumyuka wa Loodi Mmeeya wa Kampala eyasooka ng’etteeka lyta KCCA eryatondawo ekifo kino litandise okussibwa mu nkola mu 2011
l Ebyobufuzi yabitandika akyasoma ku yunivasite e Makerere gye yali omukulembeze
wa UYD.
l Oluvannyuma yalondebwa ku kifo ky’okubeera omuteesiteesi wa DP wansi w’obukulembeze bwa Nobert Mao.
Kyokka yafuna obutakkaanya n’aba DP ne batuuka n’okutuuza olukiiko mwe baamugobera mu 2020 nga bamulumiriza okutabula entambuza y’emirimu gy’ekibiina
ng’atikiza n’ekisinde kya People Power.
l Robert Kyagulanyi bwe yatandika ekisinde kya People Power Movement, yamulonda akulire akakiiko k’okukunga abantu mu ggwanga.
l Kidandala y’omu ku baasaba kkaadi ya NUP ku kifo ky’omubaka wa Kawempe North kyokka ne bagiwa Ibrahim Ssegirinya.
l Yeesimbawo nga talina kibiina kyokka n’awangulwa bubi bwe yafuna obululu 7,512 ate Ssegirinya n’awangula n’obululu 41,197. l Kidandala teyamatira kalulu n’addukira mu kkooti ng’agamba nti Ssegirinya teyalina buyigirize bwenkana S6 obumusobozesa
okwesimba ku bubaka.
l Kyokka ekyewuunyisa Kidandala na kati ky’atakkirizanga, y’engeri Ssegirinya gye yawangulamu omusango nga talinnye wadde ekigere mu kkooti okwewozaako. l Kkooti yategeeza nti Kidandala yalemwa okuwa Ssegirinya eyali mu kkomera e Kitalya, empapula kwe bamuvunaanira. l Kidandala yakanda kwewozaako ng’empapula z’empaabi bwe yazitwala n’aziwa abakulira ekkomera nga buteerere. l Baamusaba we bassa omukono nga bakakasa nti bazifunye nga talinaawo.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});