Amawulire

Ebigezo bya UBTEB bitandise

EBIBUUZO ebibagibwa ekitongole ky'ebigezo by'emikono ki UBTEB byatandiise.Ebibuuzo bino biri ku mitendera 3 ; Satifikeeti dipulooma ne higher dipulooma mu masomo ga bizinensi ne eby'emikono eby'ekikugu.

Abakungu ba UBTEB nga bannyonnyola
By: Sharon Nabasirye, Journalists @New Vision

EBIBUUZO ebibagibwa ekitongole ky'ebigezo by'emikono ki UBTEB byatandiise.

Ebibuuzo bino biri ku mitendera 3 ; Satifikeeti dipulooma ne higher dipulooma mu masomo ga bizinensi ne eby'emikono eby'ekikugu.

Enteekateeka eno yayanjudwa dayirekita wa UBTEB Onesmus Oyesigye mu lukungaana lw'abannamawulire ku kitebe ky’ekitongole kino e Ntinda .

Ekitongole kyawandiisizza abayizi 58995 nga batuulidde mu matendekero agakakasiddwa 454 mu bigezo bino bya July/August 2024 nga ku bbo 94 baliko obulemu  Abayizi 18742 bawala ate 40253 balenzi .

Alipoota eyafulumizibwa ekitongole kya national planning policy gyebuvuddeko yalaga nti abawala abasoma eby'emikono gwali gukyali mutono ddala era minisitule y'ebyenjigiriza yassaawo sikaala ez'enjawulo okusobola okusikiriza abawala okukola amasomo g'ebyemikono .

Akulira ekitongole Oyesigye agamba ebigezo bino byatandiise nga bafubye okulaba nga bituuka bulungi era mu budde mu bifo ebigezo gy'ebikolebwa .

Yategeeza nga amasomo gano bwegeyongedde okwettanirwa olw’ensonga nti emirimu egy’okunoonya gyeyongedde okubula nga buli muntu ensangi zino alina okuba ne kyasobola okwekolera eky’emikono okusobola okutondawo emirimu okuwerekereza empapulaze .

Alabudde abo bonna abategeka okukuluppya ebibuuzo nti bakukolwako nga amateeka bwegalagira

Tags: