Buganda yeeyamye okuwagira Gavumenti mu kusima amafuta

OBWAKABAKA bwa Buganda bweyamye okugenda mu maaso n'okuwagira enteekateeka ya gavumenti  ey'okusima  amafuta.

Mengo
By Dickson Kulumba
Journalists @New Vision

OBWAKABAKA bwa Buganda bweyamye okugenda mu maaso n'okuwagira enteekateeka ya gavumenti  ey'okusima  amafuta.

Obweyamo buno buwereddwa Omumyuka asooka owa Katikkiro era nga ye Minisita avunanyizibwa ku nzirukanya y'emirimu,Obuyiiya n'obwenkanya,Polof. Twaha Kaawaase bwabadde asisinkanye aba kkampuni ya  East African Crude oil pipeline (EACOP) abali ku mulimu gw'okuzimba omuddumu ogunatambuza amafuta gano ng'ensisinkano ebadde Bulange-Mmengo olw'eggulo lwa leero.

" Tuli basanyufu  nti mufisiza akadde  ne mujja okukyalira Obwakabaka. Enteekateeka eno tugiwagira kubanga tulabye nti ebigendererwa byayo by'ebimu kw'ebyo ebigendererwamu okukuuma Nnamulondo," Polof. Kaawaase bwategezezza.

Omudumu guno guva Hoima e Bunyoro ne guyita mu disitulikiti za Buganda okuli Kyankwanzi, Mubende, Ssembabule, Rakai ne Kyotera okutuuka e Tanga mu Tanzania ku liyanja li Indian Ocean nga guwerako kiromita 1443.

Polof. Twaha Kaawaase nga ye w'okuna okuva ku kkono ng'ali mu kifananyi  n'aba East African Crude oil pipeline e Bulange-Mmengo

Polof. Twaha Kaawaase nga ye w'okuna okuva ku kkono ng'ali mu kifananyi n'aba East African Crude oil pipeline e Bulange-Mmengo

Polof. Kaawaase asinzidde mu nsisinkano eno n'asaba ekitongole kino kibeereko pulojekiti gyekitandikawo ng'ekijjukizo ky'okuzuulibwa kw'amafuta bwatyo n'awa amagezi nti basobola okukolagana n'Obwakabaka okukola ebintu ng'okuzimba ebisaawe,okutandika amasomero n'amalwaliro n'ebirala ebiyinza okulowoozebwako.

John Habumugisha nga y'amyuka akulira ekitongole kino ki EACOP ategezezza nga bwebagoberera enteekateeka ennungamu mu kutambuza emirimu okuli okussa ekitiibwa mu ddembe ly'obuntu kuba abantu abagenda eyo mu 200 abakoseddwa mu nteekateeka eno basasuddwa.

Minisita w'ettaka n'ebizimbe mu Buganda, David Mpanga agambye nti baaniriza enkulakulana eno nga baakugenda mu maaso n'okukunga abantu okwaniriza enteekateeka eno. 

Habumugisha era asinzidde wano n'asaba ekitongole Kya Buganda Land Board okwanguyaako okukola ku byapa by'ettaka omugenda okuyita omuddumu e Ssembabule ne Mubende nga kino kyakwanguyako emirimu gw'okutambuza omuddumu. 

Uganda esuubirwa okutandika okufulumya amafuta gano mu 2025 era Polof. Kaawaase ategezezza nti gano gajja kubulula eby'enfuna bya Uganda bwatyo n'asaba gavumenti okukozesa obulungi ensimbi ezinaafunibwa mu butunzi bw'amafuta gano