Brig. Gen Nabaasa alondeddwa ku ky'omumyuka w'omuduumizi w'ekibinja kya UPDF ekisooka

PULEZIDENTI Museveni asindise Brig Gen Peter Nabaasa Kankunda okumyuka omuduumizi w’ekibinja ekisooka eky’amagye ekituula e Luwunga- Kakiri mu Wakiso. 

Col. James Rukundo abadde akuuma ekifo kino, yakwasizza Brig. Gen. Nabaasa ebikozesebwa mu ofiisi
By Peter Ssaava
Journalists @New Vision

Brig. Gen Nabaasa abadde akolera mu kibinja ky’amagye eky’okusatu mu bitundu by'e Karamoja, yasindikiddwa e Kakiri okudda mu kifo ekyalimu Brig Gen Joseph Ssemwanga nga kati y’aduumira ekibinja ekisooka. 

Col. James Rukundo nga y'abadde akuuma ekifo kino, yakwasizza Nabaasa ebikozesebwa mu ofiisi ng’omukolo gwabadde ku nkambi y’amagye e Kakiri mu maaso g’omuduumizi w’ekibinja Ssemwanga. 

Ssemwanga yategeezezza nga bwe balina essuubi ery’amaanyi mu Nabaasa kuba gy'abadde akolera abadde akolagana nnyo n’abantu ssaako n’okukulembeza eddembe. 

“Tukusuubiramu bingi wano mu kibinja ekisooka era tulina essuubi nti ojja kwongera okukwataganya abantu n’amagye olwo emirembe gibukaale mu bitundu eby’enjawulo,” Ssemwanga bwe yayongeddeko. 

Ye Nabaasa yeeyamye okutandikira ku kumanya embeera z’abantu mu bitundu n’okulaba bw'ayinza okubakuumira awamu mu bintu eby’enjawulo bye bakola. 

Yategezezza nti gy'abadde abadde akulembeza nnyo obukuumi obw’amaanyi mu bantu nga kino agenda kukikola ne mu ofiisi empya gy'aweereddwa. 

“Ngenda na kufuba okulaba nga tewabaawo bbanga ddene wakati w’amagye n’abantu ba bulijjo kuba abantu bangi batya ebyambalo. Njagala ffe n’abantu ba bulijjo tubeere nga tuli kimu,” Nabaasa bwe yayongeddeko. 

Omwogezi w’ekibinja ekisooka, Maj Charles Kabona yasabye abantu okwongera okuwa amagye amawulire okuva mu bitundu byabwe n’amagye gasobole okubaako kye gabayamba. 

Yagambye nti obumenyi bw’amateeka obutonotono mwebuli naye nga bali ne poliisi, baatandise okukola ebikwekweto okulaba nga bafufuggaza abakola ebikolobero.