Omulabirizi Ssebaggala okwogera bino yabadde ku ssomero lya Nyenga SS we yafundiikiridde okusiibula amasomero mu busumba bwonna obw’e Nyenga.
Agamba nti Obusikawutu n’Obugayidi buyigiriza abaana okubeera abayiiya n’okulemera mu nsonga ezibayamba era ne babeera n’empisa ez’obuntu.
Abalabudde beewale zzaala n’obuzannyo obuwangulirwa ku lukisakisa nga beetingi n’ayogera ku muyizi eyawanuka ku kalian ne yesula wansi olwa ssente za fiizi ezaali zimuwereddwa okumuliryako mu zzaala.
Mu ngeri eyenjawulo asiimye akulira essomero lya Nyenga SS Mw. Kanyike Nelson wamu n’olukiiko olufuga essomero n’abazadde olw’okulisitula ne lituuka okwegombesa n’omuwendo gw’abayizi abaali 400 ne gulinnya nga kati bali 1,644.
Bp. Ssebaggala waakunnyuka Obulabirizi bw’aweerezza emyaka 12 nga 26/Feb/ 2023 lw’anaaweza emyaka 60 egy’obukulu era agamba nti amaze emyaka 40 nga aweereza mu kkanisa ya Uganda nga yatandikira ku madaala aga wansi ppaka lwe yatuuka ku ky'omulabirizi.
Abayizi n’abasomesa baamutonedde ebirabo okumusiima by’akoledde Obulabirizi mu bbanga ery’emyaka 12 ly’amaze nga aweereza mu kifo ekyo.