Bp. Kiganda yeebazizza abaami ba Kabaka olw'okutuuka ku bantu ba wansi be baweereza

BP. David Kiganda agambye nti kirungi abaami ba Kabaka okukyalira ku bantu be baakulembera nga kino kibayamba okufuna ebirowoozo mu bantu ate ebiyamba okutambuza Obwakabaka.

Bp. Kiganda nga ayaniriza Omwami wa Kabaka atwala eggombolola Mutuba IV Kampala Massekkati, Henry Kawuma Male n'olukiiko lwe abaakyaddeko ku kkanisa Christian Focus Center mu Kisenyi
By Dickson Kulumba
Journalists @New Vision

Bino yabyogedde ayaniriza Omwami wa Kabaka atwala eggombolola Mutuba IV Kampala Massekkati, Henry Kawuma Male n'olukiiko lwe abaakyaddeko ku Christian Focus Center mu Kisenyi nga wano gye baafundikiridde olugendo lwabwe olw'okukyalira abantu b'omuluka gw'e Kisenyi II nga July 22,2022.

Bp Kiganda yateegezezza nti enfunda nnyingi balemwa okutuukirira Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga okubeerako bye bamutegeeza kyokka abaami bwe batandika okubakyalira, kiyamba obubaka obwo okububayisaamu ate butuuke waggulu mu bakulembeze b'Obwakabaka era n'asaba enkola eno egende mu maaso.

"Tuba n'ensonga nnyingi. Oluusi naffe Mukama atera okutuwa amagezi agasobola okulung'amya Obwakabaka bwa Buganda ne tulaba nga singa nago gagattiddwako, ate Obwakabaka bwandyongeredde ddala okugenda mu maaso," Bp Kiganda bwe yategeezezza abaami abaakung'anidde ku kkanisa ye.

Ye Kawuma yategeezezza nti enkola y'okukyalira abantu mu bitundu gye bakolera ne gye basula kigendererwamu okubazzaamu amaanyi n'okubeebaza olw'obuwagizi bwe bawa enteekateeka z'Obwakabaka okuli ezitumbula eby'obulamu, okuli okulwanyisa mukenenya ate n'ezitumbula ebyenfuna byabwe nga eya 'Emmwanyi Terimba'.

Bp. Kiganda ng'ayogera

Bp. Kiganda ng'ayogera

Kawuma yayise n'omumyuka we asooka; Muwanga Mpiima,sipiika w'eggombolola Florence Kiwanuka, Kansala Faridah Nalweyiso era ne yeebaza Ow'omuluka Kisenyi II, Micheal Kiggundu olw'okukunga abantu okukola emirimu gy'Obwakabaka era n'abasaba okwewala Siriimu, okukola ennyo okuva mu bwavu ate bulijjo okwekwata Bannaddiini n'abaami ba Kabaka buli lwe bafuna embeera ebamalamu essuubi.