OMUSUMBA w'eSsazza lye Lugazi Christopher Kakooza asabye bannayuganda bulijjo okusiimanga abantu ababeera beesowoddeyo okukola ebyo ebiyamba ebitundu n'eggwanga okugenda mu maaso naddala nga bayita mu byenjigiriza ekyongedde okukyusa embeera za Bantu .
Yawadde eky'okulabirako Kya minisita omubeezi owa matendekero ga waggulu Dr Chryzestom Muyingo ne mukyala we Rose Muyingo nti emyaka egisoba mu 22 batadde ettofaali ku nkulakulana ye ggwanga olw'okukyusa obulamu bwa Bantu abasoba mu 10,000 be basasulidde ebisale by'essomero ne basobola okubeera obulungi.
Akubirizza abantu abalala babalabireko kubanga eggwanga likyalina obwetaavu bw'okuyambibwako naddala mu by'okusoma.
"Abaana be tulabye wano bangi Naye ojja kwesanga nti Dr Muyingo ne mukyala we Rose baweeredde abasoba mu 10,000 mulamba ogwo baguyita mutima kubanga n'alina enyingi akumma" bwatyo Bishop Kakoozo bwe yatendereza ba Muyingo...
Bino abyogeredde ku ssomero lya Seeta High School A- Level Campus e Mukono Bwabadde akulembeddemu ekitambiro kya mmisa ey'okwebaza Katonda olw'essomero lya Seeta High School okuweza emyaka 22 bukya litandikibwawo n,okuwa Kofirimansiyo abayizi abasobye mu 300 abaavude mu matabi ga Seeta Schools ku Lwomukaaga.
Bishop yakuutidde abayizi okukoopa omujulizi Kalooli Lwanga olw'okubeera n'obumaririvu era n'abatonera ekifaananyi kye ku ssomero bulijjo bamukoppeko obumalirivu mu buli kintu kyebakola basobole okutuuka ku biruubirirwa byabwe .
Ye Ssenkulu wa Centenary Bank (ED) Joseph Balikuddembe nga y'abadde omugenyi omukulu ku bikujjuko bino ajjukizza abayizi wonna mu ggwanga okuyiga enkola ey'okweterekera nga bakyali mu ssomero, okusobola okwanguyirwa obulama mu kiseera nga bamalirizza emisomo gyabwe kyokka era n'abasaba okwewala ebyo byonna ebisobola okubawugula okubalemesa emisomo.
Ye Rose Muyingo omu kubatandisi b'amasomero ga Seeta High and Junior Schools era nga ye Mukyala wa Owek Dr JC Muyingo, ku lwa Minister Muyingo atali mu ggwanga asiimye nnyo abo bonna abababeereddewo mu bbanga ery'emyaka 22 okuli abazadde,abayizi n'basomesa ekibasobozeseza okutuuka ku buwanguzi bwokugunjula abaana n'okugaziya Seeta Schools okuva ku Campus emu okutuuka ku campu.7 okuli eza Pulayimale ne Siniya.
Ye Omukulu w'essomero lya Seeta High School A- Level Campus Ramathan Shonga awategekeddwa emikolo gino ku lw'abakulira amasomero ga Seeta High and Junior Schools agambye nti baakwongera okuteekawo omutindo mu kisaawe eky'enjigiriza mu ggwanga kwossa okuteeka empisa N'obuntubulamu mu bayizi bonna mu masomero gano.
.