OWA Boda boda eyakolagana ne Bulooka ne batunda Pikipiki ya mukama we, bakwatiddwa ne basimbibwa mu kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo ne bavunaanibwa ogw’obubbi era basindikiddwa ku limanda e Luzira nga bwe bateekateeka okusasula.
Gerald Orisha 29 ne John Bosco Nashaba 26, batuuze b’e Masanafu mu munisipaali y’e Lubaga bonna ba Bodaboda be basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Adams Byarugaba agubasomedde.
Kigambibwa nti bano n’abalala abatannakwatibwa nga August 23, 2023 babba Pikipiki ya Felix Tumwijukye Bajaj Boxer UFM 238R ebalirirwamu obukadde busatu n’emitwalo 40.
Oluvannyuma lw’okusimbibwa mu kaguli, bano baatandise okwerumiriza era Nashaba yategeezezza kkooti nti yakola gwa bwa Bulooka nga baagitunda obukadde bubiri n’emitwalo 75 mu Ndeeba nga ye yafunako emitwalo 100,000 zokka, wabula Orisha yagambye mbu yamuwa emitwalo 75.
Tumwijukye yategeezezza kkooti nti yakwasa Orisha okuvuga pikipiki eno wabula oluvannyuma lwa wiiki bbiri, yamutegeeza nti yali ekwatiddwa ku Poliisi e Nakawa era yagenda n’ebiwandiiko byayo okulaga obwannanyini okuginunula.
Yayongeddeko nti ng’enunuddwa okuva ku poliisi, yakwasa omuvubuka ono ebiwandiiko abimutwalire awaka we era n’amuddiza ne Pikipiki okuddamu okukola naye kyamubuukako ate okubikozesa okugitunda.
Nga bamaze okugitunda, baakwatibwa ne bakunyizibwa okutuusa lwe baabuulira Poliisi gye baali bagitunze mu Ndeeba era n’enunulwa kati ekuumibwa ku Poliisi e Nateete. Baggulwako omusango ku CRB: 796/2023.
Omulamuzi Byarugaba yalagidde Tumwijukye okuddizibwa Pikipiki okuva ku Poliisi era n’alagira n’abawawaabirwa okusasula sssente ezaakozesebwa mu kuginunula naye olw’okuba tebaabadde nazo, yabasindise ku Limanda e Luzira okutuusa nga October 24, 2023 lwe guddamu