Amawulire

Batabukidde omutuuze abadde asibira abaana mu nnyumba e Kazo

ABATUUZE  b’e Kazo Muganzirwaza mu munisipaali y’e Nansana bavudde mu mbeera ne bamenya ennyumba ya mutuuze munnaabwe abadde amaze ebbanga ng’asibira abaana be mu nnyumba .

Batabukidde omutuuze abadde asibira abaana mu nnyumba e Kazo
By: Fatumah Nalubega, Journalist @New Vision

ABATUUZE  b’e Kazo Muganzirwaza mu munisipaali y’e Nansana bavude mu mbeera ne bamenya ennyumba ya mutuuze munnaabwe abadde amaze ebbanga ng’asibira abaana be mu nnyumba .

Kigambibwa nti mutuuze munnaabwe ono Elya Namubiru aludde ng’asibira abaana be okuli:  Whitney Mukisa ow’emyaka 5 ne Jovan 3 mu nnyumba ng’ate tabalekedde kyakulya.

Bano bategeezezza nga Namubiru bwakyali omusenze omupya ng’era talina muliraanwa yenna gwabade abuza ngebiseera bye ebisinga abadde abimala mu nnyumba nga bwe zituuka ssaawa 9:00 ng’aggalira abaana ng’afuluma. 

Ismail Kigozi ssentebe wa Kazo Muganzirwazza yategeezezza nti abatuuze be bazze ne bamuloopera ekikolwa kya munnaabwe kwe kumenya oluggi olw'emmanju ne bafulumya abaana.  

Kigozi asabye bannannyini mayumba obutamala gawa bantu nnyumba n’okwanjula abapangisa baabwe eri obukiiko bw’ekyalo kiyambeko mu kunoonyereza ku bikwata ku bantu be basenza mu kitundu.

Oluvannyuma ssentebe Kigozi n’akakiiko ke bayanjudde abaana bano eri DISO w’ekitundu nga bakuumibwa nnabakyala okutuusa nga maama waabwe alabiseeko eri akakiiko k’ekyalo.

Tags: