Okusaba kuno kwakulembeddwa Omulabirizi w’e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira. Bajjukidde n’ebirungi Katonda bye yasobola okumukozesa ng’akyali mulamu omwali n’okuzimba Kkanisa ku kyalo gye baali bamuzaala e Mityana gye baatuuma St. Peter Nawanjiri COU gye yaleka egenda okusereka.
“Maama Imelda Musumba ne Bannayuganda abalala abaafiirwa abantu baabwe mu njega mu November24, 2018 omwafiira abantu 33, ntuusa okusaasira kwange gye muli era nkimanyi bye muyissemu emyaka gino ena si byangu kubanga nange ng’omuntu eyafiirwako bazadde bange bonna mu mwezi gumu nkitegeera naye nsaba mwongere okwekwasa Katonda abasiibe ekimyu”, Bp. Luwalira bwe yategeezezza.
Bino Bp. Luwalira yabyogeredde mu kusaba okwabadde mu maka g’omugenzi Musumba e Bwebajja ku lw’e Ntebe eggulo ku Ssande mwe yategeerezza, abaakwetabyemu nti, mu nsi buli muntu atambulira mu kufa era essaawa yonna lwe lugendo wabula engeri gye tugendamu ye yawukana.
Yayongeddeko nti, ye asanyukira nnyo abagagga abakulemberwa Godfrey Kirumira abamanyi amakulu agali mu kuzimba ennyumba za Katonda kubanga buli awali okusonda okudduukirira emirimu gya Katonda tebabulawo.
Omukolo guno gwabaddeko n’okusonda ssente obukadde 150 ku 350 ze baagala okumaliriza okusereka n’okuggala Ekkanisa eno ey’e Nawanjiri omugenzi gye yaleka azimba.
Bp. Kityo Luwalira eyakuliddemu okusaba
Kirumira yakulembeddemu omulimu gw’okusonda ssente z’okumaliriza Ekkanisa eno. Yennyamidde olw’abagagga abamu abalimbalimba bannaabwe nti mikwano gyabwe nga bakyali balamu era ku mikolo gy’okulya tebabulako wabula bwe babayita ku gy’okusonda ssente ne bafuna ebyekwaso.
Omugagga Kirumira ku mukolo
“Musaana mulabire ku Yoweri Musumba emyaka gye yamala nga mulamu, ye yali yasalawo okusiga mu Katonda era kati ffe abamanyi omukwano gwe yalina ne Katonda n’abantu abalala tuzze okuggusa omulimu gwe yaleka “, Kirumira bwe yategeezezza.
Kirumira ne Paul Ssembatya Mulundanume buli omu yawadde obukadde 10, Freeman Kiyimba ne Peter Ssentale buli omu yawadde obukadde 8. William Kajoba, Agnes Nabwiiso, looya Francis Nshekanabo nabo buli omu yawadde obukadde 5, n’abalala ne baweza obukadde 150.