Bapanze olukwe n’omwanaow’emyaka 13 ne babba

ABABBI bapanze olukwe n’akaana k’oku luguudo ak’emyaka 13 ne babba ebintu mu dduuka e Bwaise ne bakalekamu be badduka.

OC Ninsiima (wakati akutte akasumeeni) n’abalala mu dduuka lye babbye.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABABBI bapanze olukwe n’akaana k’oku luguudo ak’emyaka 13 ne babba ebintu mu dduuka e Bwaise ne bakalekamu be badduka.
Bino byabadde mu zooni ya Kamalimali mu muluka gwa Bwaise III mu kiro ekyakeesezza Olwokutaano, ababbi bwe baakozesezza akaana k’oku luguudo ke baayingizza mu dduuka olwo ne kasitula ebintu nga bwe kabiweereza ebweru.
Abaana b’oku luguudo abaalabye nga bino bigenda mu maaso, be baatemezza ku batuuze abaliraanye ekifo kino abaaloopye ku poliisi n’esitukiramu okujja okukwata ababbi. Poliisi yazinzeeko ekifo kyonna nga bamanyi nti ababbi bali munda, oluvannyuma ne bayingira okubakwata.
Wabula kyababuuseeko bwe baasanze akaana kano munda mu dduuka nga keekukumye.
Kaategeezeza nti abasajja abaabadde bambadde obukookolo mu maaso baakawambye ne bakalagira okuyingira mu dduuka nti ssinga kagaana bajja kukakuba ennyondo ku mutwe.
Akaana kaasoose kukakasa bapoliisi nti ababbi baabadde beekwese mu siiringi kubanga bakira gye kayisa ebintu nga kabibaweereza, olwo poliisi n’etandika okukuba ttiyaggaasi mu ssiiringi okuwaliriza ababbi okuvaayo.
BAKUBYE POLIISI EDDOLERA
Oluvannyuma lw’okulinda nga teri kivaayo, poliisi yalinnye waggulu mu ssiiringi wabula tewali muntu yazuuliddwaayo. Baasanze ekituli mu bbaati nga kirabika wano we baayise ne badduka ne balowoozesa akaana nti bali waggulu mu ssiiringi.
Akulira poliisi ye Bwaise, Francis Nimusiima yeebazizza abatuuze olw’okukolaganira awamu ne poliisi ne bagiwa amawulire mu budde.
Omwana yatwaliddwa ku poliisi e Kawempe