Kino kiddiridde nnamutikwa w'enkuba efuddembye mu Lukaya n'emiriraano n'evaako amataba okwanjaalira mu mayumba g'abatuuze ne basoberwa.
Abasinze okukosebwa be bawangaalira mu kitundu ekimanyiddwa ng'ekya Ttondo Road n'ekkanisa ng'enkuba buli lw'ettonnya babutaabutana n'amazzi agalinga agabavunaana okuzimba mu kkubo lyago.
Wabula abatuuze bano beemulugunyizza olwa kye bayise abakulembeze obutabafaako n'obutabalumirwa ne batasalirwa magezi kuwona mbeera eno.
8294fdc7 F6b4 4fe4 937c 787b28245144
F226c20f 6164 4b82 9f14 36921020d222
88c7dea3 0a05 4c17 9534 Ba1f6e51d84d
1eaee388 66af 4d97 Aae8 6727232f6031