Bannamawulire abasakira e Mbarara basimbye emiti nga bakuza olunaku lwabwe

May 03, 2024

Bannamawulire okuva mu bitongole ebyenjawulo mu kibuga kye Mbarara beegasse ku bannamawulire abalala munsi yonna okukuza olunaku lwabwe olwa World Press Fredom Day.

Bannamawulire nga bakuza olunaku lwabwe nga bayita mu kusimba emiti

Fatumah Nagudi
Journalist @Bukedde

Bannamawulire okuva mu bitongole ebyenjawulo mu kibuga kye Mbarara beegasse ku bannamawulire abalala munsi yonna okukuza olunaku lwabwe olwa World Press Fredom Day.

Bano bavuddeyo ne bakola emirimu egy'enjawulo ne kigendererwa kyokuddiza eri abantu mu mbeera yokukuza olunaku lwabannamawulire.

Olunaku lwa bannamawulire buli mwaka lubeerawo ennaku z’omwezi 3rd mu may,era nga omulamwa gw’omwaka guno gugamba nti “A Press for the Planet: Journalism in the Face of the environmental crisis”.

Bannamawulire abasakira e Mbarara nga bakuza olunaku lwabwe

Bannamawulire abasakira e Mbarara nga bakuza olunaku lwabwe

Bano nga bakulembedwamu ssentebe w'akakiiko akabafuga,Felix Ainebyoona owa Daily Monitor e Mbarara nga beesigama ku mulamwa gw’omwaka guno, leero mu nkuba ekedde okutonnya tebalobedde,era bakedde kulongoosa ebifo ebitali bimu nga batandikidde Mu kizungu gyebalonze  obucupa nga engeri y’okukuuma obutonde bwensi.

Bano nate bagenze mu maaso ne basimba emiti egissuka mu 100 egy'enjawulo ku ssomero lya Uganda matrys e Mbarara ne ku ttendekero lya St Joseph’s e Mbarara mu kaweefube w'pkutaasa obutonde bw'ensi.

 

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});