Aba Rotary Club bakulembeddemu abantu ne bagaba omusaayi okusobola okukendeeza ku bbula ly’omusaayi mu malwaliro.
Enteteeka eya ‘Blood donation drive’ yawomeddwamu omutwe ebibiina bya lotale ku luguudo lwa Ntebe eby’enjawulo okuli Kajjansi, Nalumunye, Namasuba, Mutundwe, Makindye West ne Sseguku nga baliwamu ne ddwaliro ly’e Mengo era olusisira luno baalukubye Kajjansi.
Abamu ku bantu abeetabye mu kugaba omusaayi
Ssentebe w’aba pulezidenti ba zi lotale ku luguudo lwa Ntebe, Pady Lukwago yannyonnyodde nti baasazeewo okuwa abantu ekirabo ky'ameefuga nga kye ky’okugaba omusaayi.
Yagenze mu maaso n’akubiriza abantu bulijjo okuvangayo benyigire mu nteekateeka zino weziba zitegekeddwa kubanga oba oli aw’omuntu omusaayi gw’owaddeyo guyinza okuyumba oluvannyuma oba ne guyamba omuntu wo.
Eva Kagona okuva mu lotale ya Makindye West yanyonyodde nti mu baana abato ne ba maama ab’embuto omusaayi gw’etagisa nnyo naategeeza nti ekikolwa eky’okugaba omusaayi kintu kya muwendo nnyo abantu kye basanidde okwetanira nga tebasoose kukakibwa.