Bakutte agambibwa okutta eyali Heedimasita wa Mwiri

Mar 06, 2024

ABEEBYOKWERINDA bakoze ebikwekweto e Jinja ne bayo­ola abateeberezebwa okubeera abamenyi b’amateeka 87 okubadde n’agambibwa okutta eyaliko heedimasita w’essomero lya Mwiri Pulayimale erisangibwa mu Kakira Town Council.

Omugenzi Isabirye (ku ddyo) ng’ajaganya n’abayizi ba Mwiri oluvannyuma lw’okukola obulungi ebigezo bya PLE bwe yali akyali heedimasita.

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde

 Bya Jackie Nambogga

ABEEBYOKWERINDA bakoze ebikwekweto e Jinja ne bayo­ola abateeberezebwa okubeera abamenyi b’amateeka 87 okubadde n’agambibwa okutta eyaliko heedimasita w’essomero lya Mwiri Pulayimale erisangibwa mu Kakira Town Council.

Bagudde ne ku pikipiki egambib­wa okuba nga ye yakozesebwa mu ttemu lino eryaliwo nga March 1, 2024, bwe baatemaatema Alexander Isabirye n’afa.

Baamugwikirizza ng’afulumye mu maka ge ku ggeeti ng’agenda mu kusaba kw’oku makya okumany­iddwa nga ‘Morning Glory’, ne bamutemaatema omutwe wamu n’okumukuba oguyinja ogunene mu ffeesi.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Kiira, James Mubi yategeezezza nti obulumbaganyi buno bwabad­dewo ku ssaawa nga 12:00 ez’oku makya e Nakanyonyi ekisangibwa mu kabuga k’e Bugembe mu Jinja City Northern division.

Kigambibwa nti ono yasoose kukubira baliraanwa bwe batera okugenda mu kusaba buli ku makya mu kkanisa ya Bugembe Miracle Centre eyeesudde mmita nga 100 okuva ku maka ge.

Mubi, Omwogezi Wa Poliisi Mu Bitundu Bya Busoga.

Mubi, Omwogezi Wa Poliisi Mu Bitundu Bya Busoga.

Richard Balikoowa yategeezezza nti omugenzi yamukubidde ku ssaawa 11:40 nti era waayiseewo ed­dakiika nga 10 n’afuluma ewuwe.

Wabula olwabadde okutunula ewa Isabirye ng’alaba abasajja bavuga pikipiki ne babulawo ku misinde, okutuuka awali omugenzi ng’ali mu kitaba ky’omusaayi.

Wabula eyasoose okulaba akan­yoolagano (teyayagadde kumwatu­ukiriza), yategeezezza nti obwedda alingiza mu katuli ka ggeeti yaabwe ng’alaba abasajja batema Isabirye.

Yagambye nti baamutemye emirundi ebiri n’oluvannyuma ne bamukuba oguyinja mu ffeesi n’aggwa wansi ne balyoka bamun­yakulako akasawo ke yabadde nako.

Alowooza nti baabadde bamusu­ubira okubeera ne ssente mu nsawo oba kompyuta. Kyokka mu nsawo mwabaddemu Bayibuli n’akasimu ak’amapeesa.

Kano baamaze ne bakasuula ku ssomero lya St. Florence erisan­gibwa ku luguudo lwa Katende era mu Bugembe.

Okusinziira ku Balikoowa, omu­genzi baamutemye ku nkoona ne wakati mu mutwe era ebiwundu by­abadde by’amaanyi. Baamuddusizza okufuna obujjanjabi obwamangu ku One World Hospital e Bugembe ne bamwongerayo mu ddwaaliro eddene e Jinja ng’eno yatuusid­dwa mu kifo abalwadde abayi we batuukira ne bamussa ku oxygen. Wano yamazeewo essaawa ntono ne babasindika e Mulago gye yafiiridde mu kiro ekyakeesezza Olwomukaaga.

Eyaliko minisita w’ebyettaka Daudi Migereko ategeezezza nti kati abeebijambiya bazze na nkuba mpya nti oluvannyuma lw’okubalemesa mu matumbi budde, kati balumba ku makya nga busaasaana.

“Teri abadde asuubira nti ekikol­wa nga kino kisobola okubaawo ku ssaawa 12:00 ez’oku makya naye eno enkola empya,” bwe yategeezezza. Yagembye nti waliwo obwetaavu obw’okukunga abantu baabulijjo basobole okulwanyisa omuze guno nti era beetegefu oku­kolagana ne be kikwatako.

“Tufiiriddwa omuntu ow’omugaso akoze ekinene mu kutumbula ebyenjigiriza mu kitundu era tusaba abeebyokw­erinda okuvaayo n’enteekateeka ey’okubahhanga,” bwe yasabye.

BATEMYE ABALALA 5

Ku makya g’Olwokutaano, abantu abalala 5 nabo baabate­mye mu bitundu eby’enjawulo ne batwalibwa mu ddwaaliro eddene e Jinja nga bali mu mbeera mbi.

Richard Gulume, omubaka wa gavumenti mu disitulikiti ye Jinja, asabye abatuuze obutasirikira mawulire gonna ageekuusa ku ttemu lino n’okulonkoma be batee­bereza okulyenyigiramu.

Oluvannyuma lw’akabinja k’abeebijambiya okuddamu oku­kola obulumbaganyi ku batuuze, Mubi agambye nti abeebyokwer­inda baasitukiddemu ne bakola omuyiggo okumala ennaku 3 okuva ku Lwokutaano paka ku Ssande ne bayoola abantu 87 omwabadde n’omu ku bagambibwa okutema Isabirye!

Omuyigo guno gwayindidde mu bitundu by’e Jinja omwabadde Bugembe, Mpumudde, Mafubira, Masese, Walukuba ne mu katale ka Madhivan, Nile Avenue ne Kiringa nga bino bisangibwa mu kibuga wakati.

Abaakwatiddwa baasan­giddwa n’ebizibiti okwabadde ejjambiya, ennyondo, obutayimbwa, emisokoto gy’enjaga, ebyuma bye bakozesa okumenya amayumba n’amaduuka n’ebintu bye babba. Ku bantu 87, kwabaddeko abaana abato ab’oku nguudo 17.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});