ABAKULEMBEZE mu munisipaali ezikola Kampala balabudde ku bifo eby’obulabe mu kiseera ky'enkuba efudemba obutasalako.
Gye buvuddeko ab’embeera y’obudde baalangiridde ng’enkuba bw'egenda okutonnya nga tesalikako okusinga bw'ebadde etonnya .
Minisipaali ezikola Kampala ziri 5; okuli Kawempe , Nakawa , Lubaga , Makindye ne Kampala Central nga bammeeya abazikulembera balaze ebifo eby’obulabe abantu bye balina okwegenderezza mu kiseera kino ng’enkuba etonnya buli kadde .
Emmanuel Sserunjogi mmeeya w'e Kawempe yagambye nti gavumenti erina okukomya okwonoona ssente z’omuwi w’omusolo mu bintu ebitayamba bannayuganda yawadde eky’okulabirako ekya baagenze mu lukungaana lwa UN bantu 72 ng’abantu 5 bandibadde bamala ,
Ebimu ku bifo eby’obulabe kuliko ku Nkulungo y’okubiri , ekkubo eriva ku kyuma kya Nsamba eky’emwanyi e Kawempe okudda Kazo Central ow’ekidduka , atambuza ebigere enkuba bw'eba etonnye totawaana kulikozesa , e Mpererwe ku kkanisa y'Abakulisitaayo , Mugalu zooni e Nammere , Kyebando Nsooba , Kanyanya ku kyuma kye bye nnyanja , ku Mayiro 6 ku luguudo lwe Gayaza wano amazzi ganjaala saako ne ku mayiro 7 ku Mbuzi , oluguudo lwa Kawaala oluva e Bwaise ku Ssatu okudda e Kawaala , ekkubo lya Chez Jonson , ekkubo lya Muganzi Lwazza amazzi ganjaalamu ,ekkubo eriva e Bwaise ku bitaala okudda e Nabweru ku mwala Nakamiro tosoboola kusala oba olina kulindako.
Amazzi Nga Ganjadde e Kiteetika Ku Cementers (1)
Buli Muntu Ng'anoonya Wayita Ku Mayiro 6 Ku Luguudo Lwe Gayaza (1)
Omutuuze E Kyebando Ng'asena Amazzi
Isima Nsanja, omumyuka wa ssente wa Ssebina zooni ng'alambula abantu be abakoseddwa amazzi
Abapangisa nga bayimiridde ku mifeebeeto oluvannyuma lw'amazzi okubasalako