Bafaaza abalina amaanyi n’ekitone nga Msgr. Magembe

1 hour ago

MSGR.Expedito Magembe abadde akulira olusozi lwa Mt. Sion Bukalngo bwe yaziikiddwa ku Mmande, bangi ku bagoberezi baatandise okwebuuza ani anadda mu kifo kye okukola eby’amagero nga bw’abadde abikola.

Abantu mu kuziika Msgr. Magembe.
NewVision Reporter
@NewVision
2 views

MSGR.Expedito Magembe abadde akulira olusozi lwa Mt. Sion Bukalngo bwe yaziikiddwa ku Mmande, bangi ku bagoberezi baatandise okwebuuza ani anadda mu kifo kye okukola eby’amagero nga bw’abadde abikola.

Twogedde ne Fr. Joseph Mukasa Nkeera okuva ku kigo kya Karooli Lwanga e Ggaba n’agamba nti buli muntu okuli n’abasaseredooti Katonda yabagabanyiza ku bitone bya Mwoyo mutuukirivu omusanvu wabula ate waliwo abalina eby’enkizo ku balala.

Agamba nti Abasaseredooti abalina ebitone ng’ebya Msgr. Magembe mu ssaza lya Kampala bangi kyokka omusumba yekka y’alina obuyinza okumulangirira n’okumutongoza okukola obuweereza bw’okusabira abantu mu ngeri ey’enjawulo oba okuwa obujjanjabi nga byonna birina okugoberera ennono n’entereeza y’Eklezia.

Bukedde atunuulidde abamu ku bafaaza abalina amaanyi ag’enjawulo okusabira abantu ne bawona okugoba amasitani n’okujjanjaba nga beeyambisa eddagala ly’obutonde, n’okusabira abantu ne basumulukuka okuva mu bizibu eby’enjawulo abayinza okulondwamu anaasikira Msgr. Magembe.
lBwannamukulu w’ekigo kye Nansana Fr. Dominic Mwebe y’omu ku bafaaza abeebuuzibwako mu ssaza era alina amaanyi ag’enjawulo mu kulwanyisa amasitani n’amalogo.
Musawo ajjanjabisa eddagala ly’obutonde era alina eddwaaliro mu Ndeeba mu munisipaali ye Lubaga.
lFr. Raymond Kalanzi; Ono faaza w’ekibiina ky’okwezza obuggya ekya Charismatic ng’alina ebifo eby’enjawulo okuli; Tereza House Bunnamwaya ne Nsambya w’asisinkanira abantu ssekinnoomu okubasabira n’okubabuulira ebinaatuuka ku bulamu bwabwe. Abamu abasisinkana mu Klezia ez’enjawulo ne Kiwamirembe.

l Rev. Fr. Anthanasius Bazzekuketta Musajja Akaawa naye ayogerwako nti ebitone n’amaanyi ga Msgr.Magembe abirina. Nga J. B Mukaajanga eyakola ne Msgr. Magembe 2016 afudde, Omugenzi Ssaabasumba Dr. Cyprina Kizito Lwanga yasindika Musajja Akaawa e Bukalango okuyambako Msgr.Magembe mu 2017. Yakyusa ebintu bingi ku lusozi era abantu bamwettanira nnyo olw’ebitone eby’enjawulo omukama bye yamuwa eby’okubuulira n’okuyigiriza ekigambo kya Katonda. Mu kiseera kino Musajja Akaawa ali bweru wa ggwanga ku mirimu emitongole.

l Fr. James Ssebayiga ne Fr. Joseph Mugamba ababadde abayambi ba Msgr. Magembe nabo boogerwako ng’abalina ebitone eby’enjawulo era abatendekeddwa omugenzi okutwala mu maaso obutume bwa Kristu mu kifo kino. Fr. Ssebayiga y’abadde mu nteekateeka zonna ez’okukungubagira n’okuziika Msgr.Magembe era mu kiseera kino y’avunaanyizibwa ku kifo ky’e Bukalango nga bwe nbalinda okulung’amizibwa omusumba.l Fr. Anthony Musaala; Alina ekitone ky’okuyimba n’okuyigiriza ekigambo kya Katonda era bwe kituka mu kusinza Essakalamentu yeekansa. Agobererwa nnyo abavubuka n’abantu abatambula n’omulembe.

Wabula wadde bano bonna batunuuliddwa ng’abalina amaanyi n’ebitone eby’enjawulo obuyinza okulonda omuntu adda mu bigere bya Msgr. Magembe buli mu mikono gya Ssaabasumba Paul Ssemogerere. Bwe yabadde ayigiriza mu mmisa y’okumuziika e Kisubi ku Mmande yakakasizza nti ekifo kye Bukalango kya kusigala nga kitambula bulungi naddala nga balung’amizibwa Mwoyo mutuukirivu.
EKIRAAMO KYA MSGR. MAGEMBE
Buli musaserdooti avunaanyizibwa okukola ekiraamo nga bino biterekebwa Cansala w’Essaza kyokka mu kuziika Msgr.Magembe ku Mmande Cansala w’Essaza lya Kampala Rev. Dr. Pius Male Ssentumbwe bwe yabadde asoma ebyafaayo by’omugenzi yagambye nti ekiraamo kya Msgr. Magembe kyakusomebwa Ssaabasumba Ssemogerere e Bukalango mu kiseera ekituufu.
ENGERI GYE YAFUNAMU AMAAYI
Mgr.Magembe abadde omu ku basaserdooti abatono mu ssaza lya Kampala abaatongozebwa omusumba okukola omulimu gw’okusabira abantu n’okugoba amasitaani nga bino abadde abikolera ku lusozi lw’e Bukalango mu Ssangaalo erya buli mwezi ne mu nkung’aana z’Olwokubiri wzimanyiddwa nga “Family Tree’’ abooluganda mwe bakung’aanira mu famire zaabwe okusabira awamu.
l Msgr.Magembe oyinza okugamba nti tabadde musaserdooti wabulijjo anti obulamu bwe bwonna bubadde bwa kwerumya na kwerekereza ku lw’abantu abalala naddala abanaku n’abali mu bwetaavu era abamubadde ku lusegere bagamba nti mu kwerumya kuno mw’abadde aggya amaanyi ag’enjawulo agawonya n’okusumula abantu.
l Kigambibwa nti abadde asula wansi era ng’asula mukamu ku kasenge akatono ennyo omutabadde kitanda.
l Abadde ayagala nnyo Maama Maria, essakalamenti ne Yezu era buli wamu abadde atambula n’omusaalaba gwe okuli Yezu ng’agukutte mu ngalo.
l Mu kitabo ky’Abakolinti ekisooka 12:4-11, kyogera nti Mwoyo mutukirivu buli muntu amuwa ebitone eby’enjawulo,era mu katikisimu tusomesebwa ku bitone bya mwoyo mutuukirivu omusanvu okuli ekyamagezi, okutegeera, eky’obujjumbize bw’eddiini, eky’okutya omukama, eky’okumanya, ekyamaanyi n’ebirala nga bino byonna mukama Katonda abadde yabimuwa

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.