Amazzi gasazeeko enguudo e Rakai

Apr 29, 2024

ABATUUZE mu bitundu by’e Kyotera ne Rakai basattira olw’enkuba etonnya ennaku zino ekivuddeko amazzi okusalako enguudo. Zino kuliko; olw’e Katengo - Kampagi olugatta disitulikiti y’e Kyotera ku y’e Rakai, oluguudo mu kitundu ky’e Lukulavvu mu Town council y’e Mutukula n’endala

Olumu ku nguudo ezaasaliddwaako amazzi. Mu katono ye ssentebe Kisekulo.

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde

ABATUUZE mu bitundu by’e Kyotera ne Rakai basattira olw’enkuba etonnya ennaku zino ekivuddeko amazzi okusalako enguudo. Zino kuliko; olw’e Katengo - Kampagi olugatta disitulikiti y’e Kyotera ku y’e Rakai, oluguudo mu kitundu ky’e Lukulavvu mu Town council y’e Mutukula n’endala.

Abasinze okukosebwa amazzi gano be baana b’amasomero n’abasuubuzi ababuliddwa we bayita. Bbo abazadde, abasomesa n’abatuuze mu bitundu basabye abakulem-beze okusitukiramu baddaabirize amakubo kuba gakoze kinene okuzza ebyenjigiriza mu kitundu emabega.

Wabula abamu ku batu-uze balumiriza kkampuni ya BID-CO esimba ebinazi mu kitundu okuziba egimu ku myala amazzi gano mwe gaali gayita. Muham-mad Jjemba, omusomesa ku Umar Education Centre e Mutukula mu Kyotera agamba nti omuwendo gw’abayizi gwongedde okuken-deera olw’embeera y’amakubo.

Atwala eby-enjigiriza mu disitulikiti y’e Kyotera, Law-rence Ssekyondwa agambye nti baatuukiridde abakulu ku disitu-likiti abavunaanyiziba ku nguudo bataase embeera eno. Ssentebe wa disitulikiti y’e Kyotera, Patrick Kintu Kisekulo agamba enguudo nnyingi ezitannakolebwa disitu-likiti eno olw’embeera y’obudde, obutaba na byuma ate n’ensimbi entono ezibaweebwa

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});