ENKYUKAKYUKA mu mbeera y’obudde eyongera okukalubya obulimi n’obulunzi eri abeesigama ku butonde nga kati anaafuna mu bizinensi y’okulima n’okulunda olina okubeera n’amazzi agamala.
Racheal Amol, alimira awafunda e Gayaza mu Wakiso agamba nti, wadde alimira wafunda naye afuna ekiwera olw’obukugu bw’assa mu ffaamu ye
Ono yalina nayikonto emu eyali temala kumuwa mazzi gamala kufukirira birime bye naddala mu kiseera ky’akasana.
Wabula oluvannyuma lw’okuwangula empaka z’Omulimi Asinga n’aweebwa obukadde musanvu yazikozesa okuzimba ttanka n’okutambuza amazzi ku ffaamu ye.
“Twayongerako ne baze ne nsobola okuzimba ttanka y’omuttaka etereka amazzi agawerera ddala era nga kati tugalina mu bungi ddala, era ne tussaako ebyuma ebikuba amazzi nga kati gakulukuta okutuuka ku birime era nsobola okulima omwaka gwonna,” bw’agamba.
AMAKA Y’ENNIMIRO YA AMOL
Ng’oyingira amaka ga Amol, oyanirizibwa oluggya olunyirira era olulabirirwa mu ngeri y’enjawulo n’emikebe egisiigiddwa langi enjeru nga gituuziddwa bulungi ku byuma mu nyiriri ssatu ku ludda lw’oluggya olumu.
Mu mikebe gino, Amol, yasimbamu enkenene enzungu nga zino zirabika mu ngeri esikiriza amaaso era nga nnyonjo. Amol agamba nti, mu kusooka yali amala gasimba nkenene mu buveera olwo n’azituuza ku ttaka ekkalu ky’agamba nti, kyatwalanga ekibangirizi kinene ate ng’ebibala byabeeranga bicaafu ate nga zitawaanyizibwa amakovu.
“Nafiirizibwanga kuba enkenene ezisinga zayonoonekanga ate nga ne ze mbeera nkungudde, zibeera zijudde ettaka ekyayonoonanga omutindo gwazo nga bakasitoma bazeesamba.
Okuva lwe natandika okuzirimira waggulu, enkenene zange nnyonjo era tezikyatawaanyizibwa makovu nga n’ekifo kati kimmala ate nga kyanguya mu kifuuyira n’okukoola. Emikebe gyonna nagituusaako empiira ezinnyamba okufukirira,” bw’agamba.
OKULIMIRA KU KIYUMBA
Ku ludda lw’ennyumba, Amol alinayo ebiyumba omulimirwa bibiri (2) nga nabyo abirabirira bulungi.
Ebiyumba birina payipu ezifuuwa amazzi ng’olufu buli lwe bibuguma era nga zonna zijjuziddwa okukakasa nti, zifuuwa amazzi gano buli lwe kyetaagisa.
Mu ngeri y’emu, wansi mu kiyumba waanyigibwa bulungi era ne wassibwawo kapeti wonna. Obutafaanana n’ebiyumba omulimirwa ebisinga abalimi gye bakozesa obuveera okusimba ebirime, Amol akozesa mikebe gya pulasitiika gy’asala mu kitundu olwo n’asimbamu ebirime bye naddala enva endiirwa.
Okusinziira ku Amol, obuyonjo bw’oluggya ne mu biyumba omulimirwa bumu ku bukugu bwe yafuna e Budaaki bwe yatwalibwa ng’omuwanguzi okulambula n’okuyigira ku balimi n’abalunzi baayo mu 2017.
“Nga tuli mu Budaaki, nakizuula nti, abalimi bonna bayonjo ebitagambika nga n’ebiyumba byabwe babyaliiririramu ebiwempe ebizungu (kapeti). Bwe nnakomawo, nasalawo nange okussa ebiwempe ebizungu mu biyumba byange mwe nnimira.
Mu kusooka nakolanga ebikata by’ettaka olwo ne mbibikka n’ebiveera ate enva endiirwa nazo nga nzissa mu buveera.
Obuveera tebwalinga bulungi eri butonde ate nga tebuwangaala kuba buli luvannyuma lwa sizoni nalinanga okuddamu okufuna obuveera obupya. Kino kyambeereranga kya buseere. Bwe nakomawo nasooka kuyoola ntuumu z’ettaka zonna mu biyumba ne nnyiga wansi bulungi era ne nzisaamu kapeti.
Bwe namala ekyo, nagula emikebe gya pulasitiika gye nnasala mu bitundu nga muno mwe nnimira enva endiirwa. Gino giwangaala era gikozesebwa okumala ebbanga ddene singa ogikwata n’obwegendereza ate nga ne kapeti ziwangaala nga zisobola okumalawo emyaka etaano nga tonnazikyusa.
Bwe nagenda mu Budaaki, newuunya engeri gye balabiriramu ffaamu zaabwe ne nkizuula nga mu Uganda tukyali mu kusaaga mu kulima okw’omulembe. Nneesuubiza nti, bwe nkomawo hhenda kukakasa nga nzisa mu nkola byonna bye nalabayo.
OKUKKAKKANYA EBBUGUMU MU BIYUMBA
E Budaaki, Amol yakizuula nti, abalimi baayo balina engeri gye bakkakkanya ebbugumu mu biyumba byabwe. Wano yassaamu ebiwujja empewo n’oluvannyuma n’afuna enkola gy’asobola okufuuwa omukka mu biyumba.
“Natawaanyizibwanga ebbugumu naddala mu kiseera ky’omusana eryakosanga ebirime byange ne bitakola bulungi. Nalaba ng’abalimi bannyogoza ebiyumba byabwe nange kwe kusalawo okukikoppa naye kinkoledde.
Nalaba ng’abalimi b’e Budaaki bakozesa faani okunnyogoza ebiyumba byabwe kyokka tezankolera, kwe kwebuuza ku balimi b’e Budaaki ne bampa amagezi okussaamu ebyuma ebifuuwa omukka gw’olufu lw’amazzi era bino binkoledde.
Ebyuma bino byamugaso kuba binnyogoza kiyumba kyonna nga wano ofuna bulungi ekiruubirirwa ate nga byangu bya kulabirira.
Okunnyogoza ebiyumba byange kinnyambye okugaziya amakungula gange nga ne sizoni zigaziwa olw’okuba ebiyumba bibeera binnyogovu,” bw’agamba.
AWATUULA ABAGENYI
Oluvannyuma lw’okuwangula empaka n’agenda e Budaaki, abantu beeyongera okumukyalira nga baagala abayigirize okulima. Wabula, abagenyi yabatuuzanga mu bisiikirize bya miti olwo ng’enkuba bw’etonnya abagenyi beggama ku lubalaza kuba n’ennyumba ye yali tennaggwa.
“Mu Budaaki ffaamu zonna zaalina obuyumba abagenyi mwe batuula okuwummula oluvannyuma lw’okulambula ate n’okufuna okunnyonnyola okulala kwonna ku bye babeera balabye. Nange nasalawo okuzimba akayumba k’omulembe ne nzisaamu n’entebe. Kati abagenyi bange babeera bakkakkamu,” bw’agamba.
OKUKWATAGANA N’ABALALA
Amol agamba nti, nga bali mu lugendo lw’e Budaaki, yakakasa nti, akuhhaanya nnamba z’abantu abalina obukugu obw’enjawulo bangi ddala nga bw’asobola. Bano baakozesa okwebuuza ku nsonga z’enjawulo naddala singa abeerako ky’ayagala okutandika oba ng’aliko okusoomooza kw’asisinkanye.
“Byonna bye ntereezezza mu biyumba byange nsobodde kubikola na buyambi bwa mikwano gyenasisinkana e Budaaki. Waliwo omwami gwe nasisinkana nga mukugu mu kulimira mu biyumba eyannyamba okumpa amagezi era nga y’ajja n’ankyalira wano ku ffaamu,” bw’agamba.
OKULONGOOSA ETTAKA
Amol, yalinga asiika ettaka mu ppipa emu wabula bwe yagenda e Budaaki, yawabulwa nti, ettaka lyonna libeera lyetaagisa okufumbibwa olwo obuwuka bwonna obwandibadde bulwaza ebirime ne busobola okufa nga terinnaba kussibwa mu bikebe mw’alimira.
Mu kiseera kino, ettaka lyonna alifumba mu ngeri erisobozesa okufuna ebbugumu eritta obuwuka mu kiseera kye kimu olwo n’abeera ng’ebirime by’asimbamu tebitawaanyizibwa.
OKULIMA OKUTEETAAGISA TTAKA
Olw’okuba yasobola okumalawo ekizibu ky’amazzi, Amol alina enteekateeka y’okutandika okulima nga takozesa ttaka era ng’amaze okuteekateeka ekifo w’agenda okukozesereza enkola eno.
“Mu nkola eno, emirandira gy’ebirime gye gibeera mu mazzi agassiddwaamu ebiriisa. Wano amakungula gasobola okweyongerera ddala okusinga enkola y’okulimira mu ttaka,” bw’agamba.
ENSIBA Y’AMAKUNGULA
Amol agamba nti, ekimu ku biremesa Bannayuganda okufuna mu bye balima y’ensimba embi eviirako bye basimbye okwonooneka ate nga tesikiriza na baguzi kubawa ssente nga birabika nga byabulijjo wadde nga babeera bataddemu ssente nnyingi.
Agamba nti, bwe yagenda e Budaaki, yakizuula nti, ng’oggyeeko abalimi okubeera abayonjo mu misiri gyabwe, enkwata y’amakungula gaabwe nayo ebeera ya mutindo gwa waggulu ekibawa bbeeyi eya waggulu.
“Nali nkungulira mu baketi era ne mbitambuliza mu baketi. Wabula kati nagula tule kwe nkungulira ebibala byange okukakasa nti, bye nkungula bikuumibwa nga biyonjo.
Bwe gutuuka okubitwala mu katale, nkakasa nti, bitambuzibwa mu ngeri ennyonjo ekyongedde okutumbula omutindo gwabyo,” bw’agamba.
Nga tannaba kuzuula kyama kino, kkiro y’obunyaanya obutono, yali agitunda 3,000/-. Oluvannyuma lw’okugattako omutindo, kkiro kati agitunda wakati wa 6,000/- ne 8,000/- okusinziira ku mbeera y’akatale ebeerawo.