Ab'oluganda bakukkulumye olwa Poliisi okuta omusamize ateeberezebwa okutta omuntu waabwe

Apr 23, 2024

FFAMIRE y'omuwala agambibwa okubuzibwawo e Kalungu balumirizza poliisi okwekobaana n'omusawo w'ekinnansi gwe bagamba nti yamutta omulambo n'agubuza eyayimbuddwa nga tebategedde.

Aba Famire nga balaga obutali bumativu

John Bosco Sseruwu
Journalist @Bukedde
FAMIRE y'omuwala agambibwa okubuzibwawo e Kalungu balumirizza poliisi okwekobaana n'omusawo w'ekinnansi gwe bagamba nti yamutta omulambo n'agubuza eyayimbuddwa nga tebategedde.
 
Bano baasangiddwa mu Kkulubya Cell mu Lukaya Town Council nga Edward Kasule, mukyala we Ruth Nakawuki abaana baabwe n'aboluganda abalala balumiriza omusawo w'ekinnansi Muzamiru Mugabi Gaboggola ow'e Nabisoga mu kitundu kye kimu nti yatta omuwala Maria Teddy Namugga 33 nti eyali olubuto mu kiseera we yabulira.
 
Bategeezezza nti Namugga yali muganzi wa Mugabi ng'amulinamu omwana ow'emyaka ena,ng'okumutta baafunamu obutakaanya obwavaako oluyombo n'okulwana nti bwe yali agenze ku mbuga (amasabo) okusaba bba ono obuyambi bw'olubuto nti kwe kumukuba navaamu omusaayi omungi ogwamuvirako okufa omulambo ne gubulako amayitire.
Aba Famire nga balaga obutali bumativu

Aba Famire nga balaga obutali bumativu

Safinah Naggayi Jjajja w'omugenzi ono agamba nti eby'okubula kw'omuntu waabwe byatandika mwaka guwedde mu September nti ng'amaze kugendako ewa mukoddomi waabwe ono Mugabi oluvannyuma lw'okumala ebbanga nga tebalaba ku muwala waabwe Namugga.
 
Yanyonnyodde nti bwe yabuuza wa omuwala gye yali Mugabi yamutegeeza nti yali amututte mu kitundu ekirala nti kyokka ekyaddako kwali kufuna mawulire nti yattibwa.
 
Kasule Taata w'omuwala ayongerako nti baali bakyewunaganya abamu ku bakongozzi b'omusamize ono abaali bafunyemu obutakkaanya naye,nti kwe kuvaayo ne babaako ow'oluganda gwe babuulira enfa ya Namugga nti era ne bategeeza nti Mugabi yali yabatiisa nabo okubakola ekintu kye kimu singa babyogera.
 
Bannyina ba Namugga okuli Denis Ggayi,Irene Nakabuye,John Paul Buwembo,Immaculate Nakasujja,Betty Nabunnya n'abalala bongerako nti baddukira ku poliisi y'e Kalungu n'ekwata Mugabi n'agulwako omusango gw'obutemu oguli ku nnamba Sd Ref.15/20/03/2024 oluvannyuma n'atwalibwa ku kitebe ekikulu e Masaka gye yayimbuddwa mu ngeri gye batategedde.
 
Anatooli Mutebi Ssentebe wa LCI ku kyalo kino naye yalaze obweralikirivu ku mbeera abatuuze be gye bayitamu,n'alaga obutali bumativu ku ngeri poliisi gyekuttemu ensonga z'omuntu waabwe akyabuzeeko amayitire.
 
Wabula omwogezi wa poliisi e Masaka ASP.Twaha Kasirye yakakasizza nga Mugabi bwe yabadde mu mikono gyabwe nategeeza nti kyokka yayimbuddwa ku kakalu ka poliisi oluvannyuma lw'okufuna okuwabulwa kw'omuwaabi wa Gavumenti nti omusibe abadde amaze ebbanga eddene mu kadduukulu nga tatwalibwa mu kkooti ekimenya amateeka.
 
Kasirye yagumizza nti okunonyereza ku musango guno kukyagenda mu maaso n'asaba ab'oluganda n'abatuuze obutatwalira mateeka mu ngalo nti wabula bakwatagane ne poliisi bagiwe obujjulizi obulumika Mugabi.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});