Minisita omubeezi ow’amazzi Aisha Ssekindi y’ayanjudde enteebereza y’obudde eno n’ategeeza nga bwe bafunye okunoonyereza okumala okuva mu bakugu ne babawa enteebereza y’obudde eno okusinziira ku bitundu by’eggwanga eby’enjawulo wakati w’omwezi gwa March ne May.
Mu bitundu by’obugwanjuba bw’eggwanga wasuubirwa okufuna enkuba ey’ekigero nga terina buzibu ku bantu , amassekkati g’eggwanga musuubirwa enkuba .
Mu bitundu nga nga Kisoro, Kabale ,Rukiga , Rwampala , Kazo, Rukungiri, Kanungu ,Ntungamo , Mbarara, Kiruhura, Isingiro, Ibanda , Kitagwenda, Bushenyi , Buhweju , Mitooma , sheema , Rubiriizi ne Kaseese bisuubirwa okufuna enkuba ey’ekigero.
Ebitundu bye Bundibugyo, Kabale, Ntoroko, Kyegegwa, Kamwenge , Kibale , Kikube, Bunyangabo, Kakumiro, Kagadi, Hoima, Paliisa ne Masindi bibadde bifuna olukubakuba olutonotono okuva mu mwezi gwa January naye nga basuubira enkuba entuufu okutandika ku ntandikwa ppaka mu makkati ga March era ekendeere ku nkomerero ya May .
Mu bitundu bya Buganda n’ebitundu ebiri ku njegoyego z’ennyanja Victoria okuli Nakasongola, Luwero , Kyankwanzi , Kakumiro , Kasanda , Nakaaseke, Kiboga, Mubende, Ssembabule, Lyantonde, Kyotera ne Rakai wabaddeyo omusana okuva ku ntandikwa y’omwaka gwa 2021 era olukubakuba lwatandika mu Febraury nga n’ebitundu ebimu byakosebwa kibuyaga.
Eno enkuba esuubirwa okutandika ku nkomerero y’omwezi guno ogwa February ne mu ntandikwa ya March.
Minisita Sekindi alabudde abalimi okweyambisa abakugu mu by’obulimi n’embeera y’obudde ku mitendera gya disitulikiti n’amagombolola kiyambeko mu ku balung'amya n’obutafiirwa mu byebakola olw’okutataaganyizibwa embeera y’obudde.
Dr. Bob Alex Ogwang amukulu w’ekitongole kya Uganda National Meteorological Authority ow’ekiseera asabye abalimi okukola okunoonyereza n’okusooka okumanya ku nteebereza y’obudde nga tebannaba kukola kintu kyonna okwewala okufiirwa.