Abatuuze bw'oku kyalo Magere ekisangibwa mu town council y'e Kasangati mu Wakiso district ng'eno n'akulira ekibina kya NUP, Robert Kyagulanyi amanyikidwa nga Bobi Wine gy'awangaalira basabye Poliisi okuvaayo babayambeko ku mabaala agasussizza okubawogganyiza ebidongo naddala mu kiseera eky'okwebaka.
Abamu batuuse n'okujulira waakiri egwanga okudda ku muggalo basobole okufuna ku buweerero.
Crhis Kikabi, ategeeezza nti amabaala naddala mu towuni y'e Magere bwe gaafuuka ekizibu gye bali n'agamba nti beetawudde ku Poliisi entakera okuyambibwa ekitasobose. Agamba nti ensonga zitwala ku Poliisi y'e Magere omuserikale gwe yasangayo n'amugamba nti baabagambako dda naye bawoza kimu 'Mutuleke tukole eggwanga Muzeeyi yaliggya ku muggalo'
Ono agamba nti ekyewuunyisa, amabaala agasula nga gawogganyiza abantu gali kinnya na mpindi ne Poliisi naye yeewuunya lwaki Poliisi erina okukwasisa amateeka ezibuwalirwa okubagambako sinakindi okubakangavvula.
Chris ne banne balaajanidde DPC w'e Kasangati abayambe ku nsonga nsonga eno kuba OC w'ekitundu tabayambye.
Ebbaala endala (akayumba okuli amabaati amapya) erinaanye Poliisi naye tegambwako!