Amawulire

Ab’e Gayaza beesunga Mbuutu ya Mbutikizi Bwaguuga

Ab’e Gayaza nabo bakonyeemu nti si baakusubwa kivvulu kya Mbuutu y’Embuutikizi Bwaguuga wakati mu luguudo eyengedde.

Abantu b'e Gayaza nga banyumirwa..jpg
By: Patrick Kibirango, Journalists @New Vision

Bya Patrick Kibirango

Ab’e Gayaza nabo bakonyeemu nti si baakusubwa kivvulu kya Mbuutu y’Embuutikizi Bwaguuga wakati mu luguudo eyengedde.

Embuutu yaakubeerawo ku Lwomukaaga luno wano mu Industrial Area okumpi ne Bukedde, ng’abayimbi bonna okuli; Eddy Kenzo Musuuza, Gravity Omutujju, B2C, Paasita Bugembe n’abalala bangi bagenda kubaayo ko ne ba Dj nga bakulembeddwa Suuna Ben ow’ebinyaanyanyaanya byonna ku 10,000/-.

Abazinyi Ba Kampani Ya Vision Group Nga Basanyusa Abantu .

Abazinyi Ba Kampani Ya Vision Group Nga Basanyusa Abantu .

Mu kusembereza abantu baffe amawulire g’Embuutu n’okuzuula ebitone abakozi ba Bukedde nga bakulembeddwaamu Kennedy Mwota, amyuka akulira ebivvulu mu Vision Group ne Katayira wa Bukedde MC Maswanku basazeeko ebitundu by’e  Gayaza.

Eno abazinyi ba Vision Group baasanyusizza abantu era n’abayimbi abato baaweereddwa omukisa okwolesa kye balinawo, nga ku bano bataano baayiseeko ne bafuna omukisa okujja bayimbe butereevu mu Mbuutu ng’anaasinga waakufuna kavu.

Omu Ku Bayimbi Abato Abavuganyizza E Gayaza Ng'ayimba Ku Kkono Ye Katayira Wa Bukede Mc Maswanku.

Omu Ku Bayimbi Abato Abavuganyizza E Gayaza Ng'ayimba Ku Kkono Ye Katayira Wa Bukede Mc Maswanku.

Abantu B'e Gayaza Nga Banyumirwa Omuziki.

Abantu B'e Gayaza Nga Banyumirwa Omuziki.

Ebinyuma bingi ebigenda okubeera mu Mbuutu ng’abantu abanaakera bagenda kufuna omukisa okuweereza ku mpewo za Bukedde FM, leediyo ennene n’okutumira ku bantu baabwe era buli omu waakuweebwa eddaakiika ttaano aweereze pulogulaamu gy’ayagala kubanga entujjo egenda kubeera kumpi ne Bukedde.
Embuutu y’Embuutikizi etegekeddwa Bukedde FM ewagiddwa MTN, Pepsi ne, Jumia ne Pilsner lager era bano abagenda okujja mu Mbuutu bagenda kubawa ebirabo.

Tags:
Gayaza
Mbuutu ya Mbutikizi Bwaguuga