ABAWARABU bakoze enkuba n’ebatabukako bw’etonnye n’ebalemerera okusirisa okukkakkana ng’abantu 40 bafudde mu ssaawa 12.
Enkuba eno ereese amataba agatalabwangawo mu byafaayo by’ensi eno kuba emanyiddwa okwakamu akasana ppereketya gyoli nti enjuba egenda kuwanuka mu ggulu eggwe!
Enkuba yakuluggusizza emmotoka n’ezitwalira mu mukoka. Engamiya n’abantu nabo baakuluggusiddwa mukoka okukkakkana bali mu myala mwe baafiiridde.
Ebyo byabaddewo Lwakubiri wiiki ewedde era wadde enkuba yasiriikiridde, amataba gakyefuze ekibuga Dubai mu UAE gye yasse abantu 21 n’abalala 19 ku muliraano mu Oman gye yasaasaanidde.
Enkuba bw’etyo ebadde emaze emyaka 75 nga tetonnya Dubai. Olwebbugumu bw’oba ovudde mu nnyonyi kikutwalira eddakiika nga bbiri zokka okutandika okutulukuka entuuyo ng’oyimiridde mu kasana.
Olw’eddungu n’ebbugumu eringi, Abawarabu baafuna ssayansi w’Abachina atonnyesa enkuba gwe balabika nga baabadde tebanamukakasa era mu kugikola, yabalemeredde n’eyiika omulundi gumu n’ebalemerera n’abamu ku baagikoze ne bafiiramu nga balwana okugikkakkanya.
Eggwanga eryo lirina ekitongole ekiyitibwa UAE Research Program for Rain Enhancement Science ekiyiiyiriza tekinologiya akola enkuba eno na kati ekyasumbuwa ensi yonna okugitegeera bwe yatonnye.
N’abaabadde batambulira mu nnyonyi naddala eza kkampuni ya Emirates ku kisaawe ky’ennyonyi ekya Dubai International Airport (DXB) baafunye obuzibu era okukakkana nga ennyonyi zikyusiddwa okugwa ku bisaawe ebirala olwamazzi amangi okwanjaala.
ENKOLA Y’ENKUBA
Engeri enkuba eno gy’ekolererwamu eva ku bannassayansi bano okukuba ebiriroliro mu bbanga ebibuguma ennyo nga birimu n’olunnyonnyo ebisaanuusa ebire mu kadde ke kamu ne bizaala oluzzizzi. Wadde yakendeezezza ku bbugumu, lyabadde likyali lingi ng’omuzira ogugwa gwe gusaanuuka.
Kyokka waliwo abakugu abagamba nti enkuba eyo yatonnye bya bulijjo omuyaga ogw’amaanyi bwe gwazze mu ggwanga eryo nga guva ku liyanja lya Buyindi ne gusika ebire mu bwengula n’ebyamawanga amalala gye gwayise ne guvaako enkuba ey’amaanyi eyatonnye mu ggwanga eryo na kati ensi gy’ekyatenda