Abasiisi ba Chapatti e Makindye omwaka bagutandise na ssanyu; bafunye eng'ano ne butto okwongera mu bizinensi
ABAVUBUKA basabiddwa okuzza ebyobufuzi ebbali basooke batunuulire eky'okweggya mu bwavu nga bettanira enteekateeka za gavumenti z’ereeta ez’okujja abantu mu bwavu ne bwe baba nga tebagiwagira.
Omuvubuka ng'atwala ettu lye.
Entanda eno ebasibiriddwa omukungu okuva mu maka gw'obwapulezidenti Faizal Ndasse bw’abadde asisinkanye abakubi ba chapatti abasoba mu 60 okuva mu Makindye Ssaabagabo ku Calendar hotel.
Yabakwasizza etenda ya katoni y’engano buli omu n’ekidomola kya butto bye yabasakidde okuva ewa pulezident Museveni bibayambe okwongera amaanyi mu bizinensi zaabwe n’okukyusa embeera zaabwe omwaka 2023. Faizal okuva mu ofiisi y'obwapulezidenti ng'ayogerako eri abavubuka.
Henry Mayanja omu ku baakwanaganyiza enteekateeka eno yakubirizza abavubuka okuwa ssente zaabwe ekitiibwa bakomye okuzijaajaamya naddala okuzicakalamu. Akubirizza abavubuka okubeera abayiiya mu mulimu gwabwe.
Abaafunye ebintu baawanjaze ku kusoomozebwa kwe bayitamu nga KCCA ebagobaganya ku nguudo ate nga kwe balina okweyiyiiza ne bu bizinensi bwabwe buno obutonotono ne basaba Ndase abogerereko ne pulezidenti agambe ku KCCA.
Abavubuka abaafunye ebintu nga buli omu ayimiridde ku byamuweereddwa.
Baasiimye Ndase olw’okubasakira ne bategeeza nti omwaka 2023 baagutandise mu sitayiro ne bamusaba ayongere okusaka n’ebirala bye bakozesa nga ggaasi n’amanda.