Abantu bana ab'ennyumba emu bwe bafiiridde mu muliro e Buyende

May 26, 2024

Ekikangabwa kigudde e Buyanja mu disitulikiti y'e Buyende, abantu bana ab'ennyumba emu bwe bafiiridde mu muliro ogukutte ennyumba mwe babadde basula mu kiro.

Abantu bana ab'ennyumba emu bwe bafiiridde mu muliro e Buyende

Godfrey Kigobero
Journalist @Bukedde

Ekikangabwa kigudde e Buyanja mu disitulikiti y'e Buyende, abantu bana ab'ennyumba emu bwe bafiiridde mu muliro ogukutte ennyumba mwe babadde basula mu kiro.

Abafudde kuliko Patrick Ssendi 67, nga yennanyini maka, mukyala we Jesca , Patrick Senko 3 nga muzzukulu ne Sharom Naamu 1 nga naye muzzukulu.

Abalala Basatu basimattuse n'ebiwundu nga kuliko Bridget Namyalo 9, Damali Nantongo muwala w'omugenzi  Ssendi ne William 17 era nga bali mu kufuna bujanjabi.

Omwogezi wa.poliisi mu Busoga e North Micheal Kasadha, agambye nti emirambo giwereddwa abenganda okugenda okuziika.oluvannyuma lw'okugyekeneenya.

Ayongeddeko nti omuliro gw'aliba nga gwavudde ku Mafuta ga petrol  agaabadde mu nnyumba nga bagatunda ate nga waliwo essigiri.

Cue

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment

More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});