Amawulire

Abalongo n'obuzannyo bwabwe obubuzaabuza

HANNAH  Babirye ne Adam  Kato  balina emyaka musanvu n'ekitundu. Abalongo bano baana ba Dorothy Nanyonga ne  Ssaalongo  Muhamad  Bazirengedde  ababeera e  Seguku  nga basoma mu P2  mu Silver Spoon e Kibuli.

Abalongo n'obuzannyo bwabwe obubuzaabuza
By: Sarah Zawedde, Journalist @New Vision

Nnyaabwe Nnaalongo  Nanyonga agamba nti, ‘nazuula nga bwe babeerako n’olugendo nga  mbagambye nti balina okulya emmere ne bagimalawo tulyoke tugende,  Babirye alya mangu emmere eyiye n'agimalawo.

Nannyonga n'abalongo nga bawere

Nannyonga n'abalongo nga bawere

Bw'amaliriza nalya n'eya Kato n'agimalako ku ssowaani  ne bandaga nti bamalirizza. Nakizuula luvannyuma nti  katemba gwe bakola   naye bwe wabeerawo abalaba nga balya okutuusa lwe bamaliriza okulya .

Nannyonga n'abalongo be, Babirye (ku kkono) ne Kato

Nannyonga n'abalongo be, Babirye (ku kkono) ne Kato

Babirye  nakizuula luvannyuma nti  abasomesa bwe babawa eby’okukola awaka  Babiye akola mangu ebibye mu kitabo n’abimaliriza oluvannyuma n'akola n'ebya  Kato  n'abimala ebitabo ne babitereka. Nakyo  nakizuula  ne tumugaana okumukolera kubanga kyali kizza Kato emabega.

Abalongo bwe benkana kati

Abalongo bwe benkana kati

Wabula Kato tayinza kwebaka nga tatuuseko mu kisenge kya Babirye kumusiibula nti asule  bulungi . Ne bw'omuwalaawala  agende yeebake akomawo n'asiibula ku mulongo munne asule bulungi . Wabula Nnaalongo agamba nti gye bakoma okwagalana ate gye bakoma okulwanagana.

 

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Balongo
Mawulire