Okusinziira ku kiwandiiko ekirambika enteebereza y’obudde mu mwezi gya sizoni eno esooka (March, April ne May), okuva mu kitongole ekikola ku nteebereza y’omudde mu ggwanga ekya Uganda National Meteorological Authority (UNMA), ebitundu by’eggwanga ebisinga bigenda kufuna enkuba ensaamusaamu.
Omulimi Ng'afukirira Nassale.
Ekiwandiiko ekyasiddwako omukono gw’akola ng’akulira ekitongole, ying. David Elweru, ebitundu by’amasekkati, ebiriraanye ennyanja Victoria n’amaserengeta bye bissuubirwa okufuna enkuba esusseeko ng’okutwaliza awamu enkuba ya sizoni esuubirwa okutandika wakati wa March ono.
Okutwaliza awamu, enkuba esuubirwa okunyiinyitira mu makkati oba ku nkomerero ya April olwo etonnye okutuukira ddala mu June.
Micheal Lubega, omusomesa ku Makerere yunivaasite era akola n’ekitongole ky’enteebereza y’obudde agamba nti enkuba tennaba kunnyikiza bulungi ttaka n’olwekyo abalimi tebandipakuse kusimba birime bya nsigo nga kasooli, ebijanjaalo, ebinyeebwa, ssoya n’ebirala kuba akasana singa kanaayaka ensigo yaakufiira mu ttaka.