Naali, ow’abaana abasatu, yava mu disitulikiti y’e Bugweri e Busoga nga yasitula okuva mu Uganda nga March 10, 2022 n’agenda e Dubai okunoonya emirimu.
Yagendera ku viza ya kukyala nga ya mwezi gumu. Yakolagana ne agenti gw’amanyiiko erya Michael ng’ono Munnayuganda abeera mu kibuga Abu Dhabi. Bwe yatuukayo, baamufunira omulimu gw’omu kiyumba ng’alina okulabirira omukadde n’okusiimuula ennyumba.
Naali ng’atuuka ku kisawe e Ntebe oluvannyuma lw’okukomezebwawo okuva e Dubai
Ennyumba yali nnene nnyo ng’ali bw’omu era yakolayo omwezi gumu n’addukayo ng’afa omugongo era nga tafunamu wadde obudde obuwummulamu. Bwe yaddayo ewa Michael, yamugamba asooke amuddize obukadde 3 ze yamuteekamu bw’aba ayagala okumuddiza paasipooti ye.
Eno ye yali entandikwa y’okulaba ennaku. Yasooka n’apangisa akatanda mu kiyumba nga kw’asula ng’alowooza nti ajja kufuna omulimu omulala, okutuusa ssente lwe zaamuggwaako.
Wano we yafunira banne abaamuwa amagezi batandike okubeera ku nguudo nga bwe beeyiiya. Engeri gye baabeeramu, ya kuyambagana ng’abeera akwasizza eky’okulya y’awaako banne abatalina.
“Mulimu abawala abamu, abaatandika okukola obwamalaaya nga tebalaba kyakukola. Waliwo Bannayuganda abapangisa amayumba era bano bagutwala ng’omukisa gw’okuganza abali ku nguudo ng’abazze okubabudamya.
Wano ng’ali ne Gyaviira Lubowa Ssebina (ku ddyo), eyamuyambye okudda.
Olumala okubaagala nga babagoba,” Naali bw’agamba. Yagasseeko nti abawala abamu bafunirayo embuto n’abalala ne bazaala abaana abatamanyiddwaako bakitaabwe. Waliwo n’abamu be bakaka omukwano naddala abasula ku nguudo ne batatawaana wadde okuloopa kuba tebalina biwandiiko.
Olw’okuba ng’abantu bangi abali ku nguudo e Dubai, abatalina bye bakola nga ne mu ggwanga balimu mu bukyamu, Gavumenti ya UAE yasala amagezi n’ebayita nga babasuubizza okubazza ewaka buli akaluubiriddwa.
“Buli eyatuukangayo nga bamutwala mu ‘Detention Centre’ gye bakuumira ababa balindiridde okufuluma eggwanga,” Naali bw’agamba.
Embeera y'ekkomera
Naali agamba nti wadde babadde mu kkomera kyokka baabalekera amasimu ne babagamba bakubire ffamire zaabwe babasondere ssente ezibakomyawo.
Mulimu abawala abalina embuto n’abalina abaana era bano be baasooka okuwa omukisa ogukomawo. Waliwo ebibiina ebigaba by’obuyambi ebyabasondera ssente ne bakomawo.
Ng’oggyeeko ebbulwabikolwa, bakaluubirizibwa mu bikozesebwa ebimu mu bulamu obwabulijjo. Ekyokulya nakyo bw’ofuna ekyemisana, okufuna ekyeggulo luba lutalo. Yamaze ennaku 60 mu kkomera era essuubi lyali limuweddemu kuba ab’ewaabwe ne bw’alaajana tebalina ssente zimukomyawo.
Yalabidde awo ng’afuna abazirakisa abaamusasulidde n’akomawo naye nga mu kkomera lya Al Wassan gy’abadde, yaleseeyo abawala 196.
Baafunye tiketi n’ekibaluwa ekikakasa nti Munnayuganda ne bamulinnyisa ennyonyi eyamutuusizza e Ntebe ku Lwokubiri.
Kyokka abaddukanya ekisaawe baasoose kumwekengera olw’okuba teyabadde na paasipooti okutuusa lwe baabannyonnyodde ne bamuleka okweyongerayo.
Gyaviira Lubowa Ssebina ow’ekibiina ky’obwannakyewa ekya ‘Ssebina Foundation’, be baasasulidde Naali 1,200,000/- okukomawo mu ggwanga.