Ababaka ba Palamenti bawakanyiza eky’okusengula ekkomera ly’e Luzira

Apr 27, 2024

PALAMENTI ewakanyizza enteekateeka za gavumenti okusengula ekkomera ly’e Luzira, ettaka liweebwe Yinvesita.

Gen. David Muhoozi ng’annyonnyola palamenti

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde

PALAMENTI ewakanyizza enteekateeka za gavumenti okusengula ekkomera ly’e Luzira, ettaka liweebwe Yinvesita.
Ababaka bawadde amagezi nti Yinvesita bamufunire ekifo ekirala, enkulaakulana esobole okusaasaanira ebitundu bya Uganda ebirala.
Bino byaddiridde Minisita omubeezi ow’ensonga z’omunda David Muhoozi okwanjulira Palamenti lipoota ng’eraga nti ekkomera ly’e Luzira lijjudde ng’okunoonyereza kwe baakola mu March 25, kulaga abasibe 8,790 be bakuumibwayo so nga lirina okusuza abasibe 1,923.
Ekkomera lino litudde ku bugazi bwa yiika 260 naye kizuuliddwa ng’ekifo kifunze, ebyokwerinda tebisobola kunywezebwa bulungi olw’amakubo amangi agayingiza abantu nga n’ebizimbe embeera yabyo yeeraliikiriza n’asemba nti ettaka lino likolebweko ekintu ekirala.
Wabula ababaka okwabadde Asuman Basalirwa (Bugiri Munisipaali) n’abalala baakiwakanyizza ne bategeeza nti wandibaawo abantu abali emabega w’okwezza ettaka lino.
Bategeezezza nti bazze bawaayo ettaka eryenjawulo okuli n’erya Naguru naye bukya baliwaayo tebalabanga nkulaakulana gye baali balabye ne bakakasa nti ku luno babasanze balaba lino si baakuliwaayo.
Sipiika Anita Among yeewuunyizza minisita obutayatuukiriza yinvesita kyokka n’agamba nti alina ettaka eriri mu kifo ekirungi nga yinvesita bw’aba asiimye asobola okulimuweera ku bwereere yeesonyiwe Luzira.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});