ABAANA babiri ab'essomero n'omuvuzi wa pikipiki, baweereddwa ebitanda nga bali mu mbeera mbi, oluvannyuma lw'akabenje akagudde ku luguudo oluva e Kampala okudda e Mubende.
Poliisi ekutte omujaasi ow'e Kabamba Military Garrison agambibwa okuvugisa ekimama, n'akoona abantu bano abasatu, ababadde batambulira ku pikipiki. kyokka abaduukirize pikipiki , bagibbye.
Akabenje , kagudde ku kyalo Kagave ku luguudo oluva e Kampala okudda e Mubende mu Mityana district.
Abalumiziddwa ; kuliko Ritah Nansubuga 10, nga muyizi ku ssomero lya Kyankowe day and boarding P/S ng'abeera Nakitooro mu Ggombolola y'e Ttamu e Mityana.
Omulala ye Anita 6, omuyizi ku ssomero lya St. John Paul Nursery and P/S nga naye abeera Nakitooro , wamu n'omuvuzi wa bodaboda , atannamanyika bimukwatako.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lamerk Kigozi, agambye nti bakutte dereeva w'emmotoka premio nnamba UBA 363T agambibwa okuvugisa ekimama n'avaako akabenje kan