Entiisa ebuutikidde abatuuze ku mwalo gwe Namisoke ogusangibwa mu ggombolola y’e Bubeke ku kizinga Bubeke e kalangala abaana basatu bwebafiiridde mu nnyanja nga bagenze okuwuga.
Abaafudde kubaddeko Ndajanabwe Junior ow’emyaka ena, Magema Mustafa ow’emyaka etaano n’e Kalema Nicholus mukaaga.
Abatuuze kibabuuseeko abaana bano ababadde bazannya omupiira ku mwalo bwebabuzeewo okumala esaawa ssatu kyokka bagenze okubanoonya n’e basanga engoye zaabwe ku lubalama lwennyanja nga ekyadiridde kulaba mirambo ebiri nga giri ku nnyanja.
“Babadde wano nga bazannya omupiira ku ssaawa nga munaana wabula tewayiseewo ssaawa ziwera ssatu nga tulaba abantu bakwatiridde ku mwalo nga bagamba nti emirambo gy’abaana giri ku mazzi giseyeeya,” Nassanga bwagamba
Kitegerekese nti abaana bano babadde bana nga kwabaddeko n'owemyaka esatu.
Kaggwa Ibrahim omutuuze ku mwalo guno agamba nti omwana ono omuto yazze n'ategeeza bazadde be nga bane bwebagenze mu mazzi ekintu bbo kyebatafuddeko kubanga ebigambo byabadde tebyatuuka bulungi.
“Bulijo abaana tubagaana okugenda ku nnyanja naye tetumanyi kiki kyatanudde bano ate okugenda eyo gyebafiridde,” Kaggwa bwagamba.
Poliisi ekakasiza okufa kwa baana bano era ne kkiriza abenganda okugenda okubaziika.