ABANTU abaabulwako abaabwe tebamatidde n’olukalala minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga Gen. Jeje Odong lwe yayajulidde palamenti, baagala aleete
olulala.
Abamu ku baakwatibwa n’abamu ku baabulwako abaabwe, balojja ennaku n’okutulugunyizibwa kwe bayiseemu okuva lwe baakwatibwa n’abamu okuva abantu
baabwe lwe baabuzibwawo!
Abaakwatibwa okuva mu bitundu eby’enjawulo baalombozze ebikolobero ebibakoleddwaako ne batuuka okufuna obulemu obw’olubeerera.
Omu ku bano ye Godfrey Ssegiriinya agamba nti baamukwata nga November 17, yagambye nti baamuggyamu eriiso era yaggyeemu essaati n’alaga omugongo
nga gujjudde enkovu.
Twaha Kagimu eyali ddereeva wa takisi era nga mutuuze w’e Kabembe, Mukono agamba nti abaserikale baamukuba ne bamumenya okugulu okwa kkono nti
kati takyasobola kuvuga mmotoka.
Katumba ( Ku Kkono) Ng’ali Ne Kyagulanyi Mu Maka Ge.
Yagambye nti olunaku lwe baakwatibwa baali abantu 17 naye 15 bonna be baasobola
okuyimbulwa wabula alumiriza nti Ssempijja eyali omuwanika waabwe talabikako ate nga yali akubiddwa bubi nnyo.
Ate Ivan Lukwago ye kansala omulonde ow’e Mutundwe era abaamukwata baamukuba bubi era baamuleese bamusitulidde mu mikono ng’omwana omuto era yalemeddwa okwogera.
ABAABULWAKO ABAABWE BAKYALAAJANA
Florence Nabakooza ow’e Kyebando yagambye nti bba Shafique Wangili yakwatibwa n’amuleka ng’ ali lubuto lwa myezi musanvu n’amulekera abaana babiri kyokka mu kiseera kino yazaala naye abaana talina ky’abaliisa.
Yabadde akyalinamu essuubi kyokka minisita bwe yasomye olukalala lw’amannya mu palamenti nga tekuli lya bba obwerariikirivu ne bumweyongera.
Esther Nakimera maama wa Abubakar Kawooya agamba nti mutabani we yakwatibwa nga January 6, 2021 wabula anoonyezza mu buli kifo w’amusuubira okuba
nga tamulaba.
Mercy Natukunda mukyala wa John Bosco Kibalama eyabuzibwawo nga June 03, 2019 agamba nti buli olukya essuubi lyeyongera okubaggwaamu kubanga essuubi libadde libali mu minisita kyokka bwe yafulumizza amannya erya bba teryabaddeko.
Bano baabadde mu maka ga Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) e Magere ku Lwokutaano
n’Olwomukaaga ng’asisinkanye abakulembeze ba NUP okuva e Kiboga n’Obugwanjuba bwa Uganda.
Wabula Kyagulanyi abagumizza nga kkooti bw’emukkirizza okuggyayo omusango, kati agenda kulangirira ekiddako kubanga omulamwa gw’okukyusa obukulembeze
mu ggwanga gutandikabutandisi.
Comments
No Comment