Aba booda balabuddwa ku mateeka g’oku nguudo

POLIISI eragidde aba bodaboda okugoberera amateeka g’oku nguudo n’okwewala ebikolwa ebimenya amateeka naddala mu nnaku za Ssekukkulu.

Muleterwa ng’ayogera eri aba bodaboda mu lukiiko e Nansana wiiki ewedde.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

POLIISI eragidde aba bodaboda okugoberera amateeka g’oku nguudo n’okwewala ebikolwa ebimenya amateeka naddala mu nnaku za Ssekukkulu.

Amyuka akulira ekitongole kya poliisi ekitabagana n’omuntu waabulijjo, Anatoli Muleterwa bino yabyogeredde Nansana gye yasisinkanidde abagoba ba bodaboda. Yagambye nti aba booda abamu bagaanyi okugoberera amateeka g’oku nguudo n’abalala beenyigira mu bikolwa ebimenya amateeka. “Aba bodaboda mufeeyo ku mulimu gwammwe bwe muba mugwagala.
Mugoberere amateeka g’oku nguudo ate mwewale okweyambisibwa abamenyi b’amateeka mu kubasaabaza n’okusomba eminyago,” bwe yagambye. N’abasaba okukwatagana ne poliisi okugonjoola ebibasoomooza.