ABAKYALA ku lukalu lwa Afrika abeegattira mu kibiina kya African Women Measure Group bakiikide gavumenti ez'omu mawanga gaabwe ensingo olwokutambula akasoobo mu kuteekesa mu nkola ebisuubizo ebyakkaanyizibwako n'aba UN ebya Sustainable Development Goals.
Okusinziira ku byakkaanyizibwako ebisuubizo bino birina okuba nga byonna bituukiriziddwa we bunaatuukira mu 2030 naye ekibakubye enkyukwe nti bingi ku bino tebinnakwatibwako so nga wasigadde emyaka mitono ddala okutuuka mu 2030.
Mu lukung'aana lw'abaamawulire olwa African Regional Forum on Sustainable Development olwayindidde e Munyonyo , abakyala bano nga bali wamu n'ab'ekibiina kya Akina Mama wa Afrika baanokoddeyo ensonga 4 ez'omuzinzi ze baagala zikolebweko .
Avunaanyizibwa ku ntambula y'emirimu mu kibiina kino, Grace Namataka yategeezezza nti tebannabeera bamativu n'engeri ebyobulamu mu mawanga gano gye bikwatiddwamu baagala mu bajeti eby'obulamu byongerwe ssente , amalwaliro gateekebwemu eddagala n'ebyetaagisa ebirala byonna era ba maama ababeera bagenze okuzaala bafiibweko mu ngeri eyenjawulo kikendeeze ku muwendo gw'abo abafiira mu ssanya n'abaana baabwe .
Ekirala abakyala bagamba nti bakola emirimu mingi egitabasasulwa naddala egy'awaka kyokka bo abaami baabwe ne babatunuulira nga abatalina kye bakola , baagala emirimu gino giteekebwemu ekitiibwa .
Bavumiride ebikolwa eby'okutulugunyizibwa mu maka saako n'amateeka agamu agataganya bakyala kwetaaya.
Mu ngeri y'emu balaajanidde gavumenti zaabwe okwongera amaanyi mu pulogulaamu ez'okuggya abakyala mu bwavu nga bayita mu kubawa ku ssente z'entandikwa okutondawo bizinensi ezenjawulo okuli n'okubayunga ku butale obw'ebyo bye babeera balimye.
Ensonga y'obutonde bw'ensi nayo yakoneddwaayo nti y'essaawa ku lukalu lwa Afrika amateeka amakakali gatekebwe mu nkola okutangira abo abeefunyiride okwonoona obutonde bwensi.