Gavumenti esuubizza buwumbi okuddaabiriza ekiggwa e Kyenjojo

GAVUMENTI esuubizza ensimbi 1,500,000,000/- (akawumbi kamu n’obukadde 500) okuddaabiriza ekiggwa ky’omujulizi St. Adolf Tibeyalirwa ekisangibwa e Katoosa mu disitulikiti y’e Kyenjojo.

Minisita Nabakooba ng’ali ne bannaddiini e Kyenjojo.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

GAVUMENTI esuubizza ensimbi 1,500,000,000/- (akawumbi kamu n’obukadde 500) okuddaabiriza ekiggwa ky’omujulizi St. Adolf Tibeyalirwa ekisangibwa e Katoosa mu disitulikiti y’e Kyenjojo.

Bino byayanjuddwa Minisita w’ebyobulambuzi Tom Butime, mu kulamaga ku kiggwa kino ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde. Kino kisangibwa mu ssaza ly’Eklezia ery’e Fort Portal.

Butime yagambye nti ssente zino zaakubeera mu bajeti y’omwaka gw’ebyensimbi ogujja nga baakuzikozesa okuzimba bbugwe, okuteekawo amazzi amayonjo, n’okuteekawo byonna ebinaafuula ekifo kino eky’omutindo. Minisita w’ebyettaka Judith Nabakooba ye yabadde omugenyi omukulu, eyakiikiridde Katikkiro wa Uganda, Robinah Nabbanja n’asoma n’obubaka bwe mwe yakuutidde Abakatoliki okusigala nga beekwasa abajulizi.

Nabbanja era yakuutidde Bannayuganda okulwanyisa ekibbattaka nga beewala okulisalaasalamu n’akubiriza ffamire okukozeseza awamu ettaka.

Mmisa yakulembeddwa Ssaabasumba w’e Mbarara, Lambert Bainomugisha