Obwakyabazinga bwa Busoga bweyamye okulwanyisa kkansa wa mabeere n’ow’omumwa gwa nnabaana

Bino byogeddwa omumyuka wa Katikkiro wa Busoga ow’okubiri, Alhaj Osman Ahmed Noor bw’abadde ku mukolo ogw’okugabira abantu abawangudde mu mpaka z’okudduka n’okuvuga obugaali okwetooloola mu Jinja.  

Obwakyabazinga bwa Busoga bweyamye okulwanyisa kkansa wa mabeere n’ow’omumwa gwa nnabaana
By Donald Kiirya
Journalists @New Vision
#Busoga #Kyabazinga #Kkansa #Kulwanyisa

Obwakyabazinga bwa Busoga bweyamye okukwatagana n’ebitongole mu kiketezo ky’ebyobulamu okwongera amaanyi mu kubunyisa enjiri ey’okulwanyisa obulwadde bwa kkansa wa mabeere n’ow’okumumwa gwa nnabaana mu kitundu kya Busoga.

Omumyuka wa Katikkiro wa Busoga Ow'okubiri Alhaj Osman Ahmed Noor (ku kkono) n’akulira ekitongole kya Rays of Hope Hospice Jinja Sylvia Nakami (ow'okubiri ku kkono) nga basiima ebitongole ebyetabye mu Cancer run ku Jinja Golf Club ku Lwomukaaga.

Omumyuka wa Katikkiro wa Busoga Ow'okubiri Alhaj Osman Ahmed Noor (ku kkono) n’akulira ekitongole kya Rays of Hope Hospice Jinja Sylvia Nakami (ow'okubiri ku kkono) nga basiima ebitongole ebyetabye mu Cancer run ku Jinja Golf Club ku Lwomukaaga.

Bino byogeddwa omumyuka wa Katikkiro wa Busoga ow’okubiri, Alhaj Osman Ahmed Noor bw’abadde ku mukolo ogw’okugabira abantu abawangudde mu mpaka z’okudduka n’okuvuga obugaali okwetooloola mu Jinja.  

Empaka zino zaagendereddwamu okwongera okubunyisa enjiri ey’okulwanyisa obulwadde bwa kkansa mu Busoga era zaategekeddwa ekitongole kya Rays of Hope Hospice Jinja. 

Omumyuka wa Katikkiro wa Busoga ow’okubiri, Osman ategeezezza nti ssinga enjiri ey’okulwanyisa kkansa eyongera okubunyisibwa, kijja kuyamba okukendeeza obulwadde buno mu Busoga ne mu ggwanga okutwaliza awamu.

Aba Iganga Community Brass Band Nga Bakulembedde Banna Jinja Okukumba Bwe Baabadde Ku Jinja Golf Club E Jinja Ku Lwomukaaga.

Aba Iganga Community Brass Band Nga Bakulembedde Banna Jinja Okukumba Bwe Baabadde Ku Jinja Golf Club E Jinja Ku Lwomukaaga.

Osman agambye nti Obwakyabazinga bwa Busoga nga buyita mu minisitule y’ebyobulamu bubadde bukola omulimo ogw’okubuulirira abantu okwekuuma obutakwatibwa ndwadde ez’enjawulo omuli ne kkansa n’engeri y’okwejjanjaba ssinga zibeera zibakutte wabula nti bagenda kutandika okukolagana n’ebitongole by’ebyobulamu ebyannakyewa bongere okulwanyisa Kkansa.

Asabye abantu naddala abakazi mu Busoga okugenda okwekebeza obulwadde bwa Kkansa wa mabeere oba ow’oku mumwa gwa nnabaana basobole okutandika ku ddagala amangu ddala ssinga bazuulibwa nti babulina.

Akulira ekitongole kya Rays of Hope Hospice Jinja, Sylvia Nakami, ategeezeza nti obulwadde bwa kansa w’amabeere ne ow’oku mumwa gwa nabaana bukyeriisa nkuuli mu kitundu kya Busoga n’asaba ebitongole ebyenjawulo okuvaayo bakolagane balwanyise kansa mu Busoga nemu ggwanga okutwaliza awamu.

 Nakami ategeezezza nti ekitongole kya Rays of Hope kirina vaccine ya HPV era asabye abazadde okutwalanga abaana baabwe ab’obuwala abali waggulu w’emyaka 14 bagemebwe obulwadde bwa kkansa era n’ayongera okusaba abakazi abali wagulu w’emyaka 29 nabo bagende beekebeze obulwadde bwa kkansa ku bwereere ku kitebe ky’ekitongole kyabwe era abanaazuulibwa ne kkansa batandikirewo obujjanjabi bunnambiro.

Akulira ekitongole kya Busoga Health Forum, Moses Kyangwa ategeezezza nti ekitongole kyabwe kikulembedde omulimo ogw’okutegeka olusiisira olw’ebyobulamu olutuumiddwa Royal Wedding Health Camp, olw’ennaku essatu mwe bagenda okujjanjabira abantu nga lwakutandika nga November 15th, 2023 era kwe kusaba ebitongole eby’enjawulo ebiri mu Busoga ne mu ggwanga okutwaliza awamu okulwetabamu bajjanjabe abantu endwadde ez’enjawulo.

Ye Rev. James Kivunike yasomedde abeetabye ku mukolo ogw’okugaba ebirabo olunyiriri okuva mu Bayibuli olwa Psalms 107:19 era n’asaba abantu okukulembeza Katonda nga balwanyisa endwadde ez’enjawulo omuli n’eya Kkansa.

Abamu ku beetabye mu mpaka z’obugaali n’emisinde nabo baliko bye bayogedde ne bakunga abantu okwongera amaanyi mu kulwanyisa kkansa. Abawanguzi baweereddwa ebirabo nga Osman ye yabibakwasizza.