Amawulire

Bamalaaya abajjudde ku bbaala ze Kijabijjo basattizza abatuuze

ABATUUZE ba Kijabijo “C” mu minisipaali y’e Kira balaajanidde ab’obuyinza okubataasa ku bbaala emu mu kitundu egambibwa okubeeramu bamalaaya abetunda emisana ttuku ekiviiriddeko abaana babwe okuyiga emizze

Abatuuze nga bali mu meeting
By: Teopista Nakamya, Journalists @New Vision

ABATUUZE ba Kijabijo C mu minisipaali y’e Kira balaajanidde abobuyinza okubataasa ku bbaala emu mu kitundu egambibwa okubeeramu bamalaaya abetunda emisana ttuku ekiviiriddeko abaana babwe okuyiga emizze

 

Ebbaala eyogerwako esanginbwa mu maaso g'ekiggya ekigambibwa okuba e ky'ekika kye Mamba ku luguudo oludda e Kabubbu.

 

Abatuuze okuva mumbeera kyaddiridde ssentebe w’ekitundu Hajji Muhammad Muyimbwa okutuuza olukiiko lw’ekyalo olwetabiddwamu nabakulembeze ba munisipaali y’e Kira nga bakulembedwamu kansala w’ekitundu kino era omuwandiisi ku kakiiko k’ekyalo Mark Sserunjogi, Peter Luyimbaazi akiikirira omuluka mwebali ku divizoni e Kira n’abalala

 

Dorah Yusufu omu ku batuuze yategeezeza nti ebbaala efuuse ya bulabe nnyo eri abaana babwe naddala abobulenzi abasumuuseemu olwa bamalaaya okubayitanga okwetaba nabo mu nsonga z’omukwano.

 

Yusufu agamba nti ekisinga okubatabula abamu bwe batamiira beyambula nebasigala bute ekintu ekibaswaza  nga abazadde eri abaana babwe.

Abatuuze be Kijabijjo nga bali mu lukiiko

Abatuuze be Kijabijjo nga bali mu lukiiko

 

Mu kwanukula ssentebe yakakasizza ng' ebbaala eyogerwako bwagimanyi nga era nannyini yo yamutuukirira n’akakiiko ke n’abanjulira abantu be wabula nebatyamu okusooka okubayingiza mu bitabo bya LC era nebamulagira asooke abazzeyo basooke betegereze ensonga eno n’oluvanyuma bamuyite bamutegeeze kyebanabeera basazeewo.

 

Sserunjogi yategeezeza abatuuze nga bo abakulembeze   bwebatalina musango gwonna gwe bayinza kuggula ku bamalaaya wabula bali mu nteekateeka ewabula n’okulungamya nnanyini bbaala eno ku ngeri bamalaya gyebayinza okukola emirimu gyabwe mubudde obutuufu oba okubanonyeza ekifo ewalala ekitanyigiriza batuuze.

 

Mu lukungaana lwerumu, ssentebe akyukidde abatuuze nabalabula okukomya ebikolwa bya kalogo kalenzi nga batuuka n’okunaabira mumasanganzira nabategeeza nti anakwatibwako yenna kajakumujuutuka

 

 

Muyimbwa yalaze obwerariikirivu olwamassabo agamerukawo buli kadde, era nasaba abasawo b'e kinnansi bonna abali mu kitundu okumutuukirira abalage abakulira mu kitundu kibasobozese okutangira banakigwanyizi abenoonyeza ebyabwe okuberimbikamu.

 

Bino webijidde nga kye bajje bakwate abafumbo Fred Mpindi ne mukyala we Harriet Nakiwu abaasangibwa nakawanga k'omuntu nga kawanikiddwa wagulu ku ffumbiro gyebuvuddeko era nga bano batemeza mabega wamitayimbwa oluvanyuma lw’okukwasibwa poliisi ye kasangati nebagulwako omusango gw’okulya abantu

Tags: