AKATAMBI akaasaasaanye ku mikutu gya social media nga kalaga ababaka nga beeweeweetera mu Palamenti koogezza abalonzi ebikankana.
Akatambi kano kaakwatiddwa mu lutuula lwa Palamaneti ku Lwokusatu mu kisenge omuteesezebwa.
Kalaga omubaka omukazi ng’aweeweeweeta ensingo y’omubaka omusajja okumala akabanga. Yabadde akyamuweeweeta, mubaka munne omulala omusajja eyabadde mu mugongo n’akutama n’akwakkula omukono gw’omubaka omukazi n’aguteeka ku mutwe gwe naye ne bamuweeweeta.
Wabula kino omubaka omukazi yakikoledde akabanga katono omukono n’aguzzaayo ku gwe yasoose okuweeweeta nga bwe baseka. Ababaka obwedda basanyufu nnyo nga balaga nti ekikolwa kibanyumira.
Bukedde bwe yeetegerezza akatambi yazudde ng’ababaka abalimu ye Bumali Mpindi (atalina kibiina) akiikirira abaliko obulemu ng’ono gwe baasoose okuweeweeta.
Omukyala eyalaze obukugu mu kuweeweeta ensikya z’abasajja yafaananye Juliet Nakabuye Kakande (NUP) ng’ono ye mubaka omukazi owa City ye Masaka.
Waliwo ebifaananyi ebyakwatiddwa oluvannyuma nga biraga Nakabuye ng’ayambadde engoye ezifaanana ez’omubaka omukyala eyabadde mu katambi. Wabula omubaka omusajja owookubiri tategeerekeka engeri gye yabadde akutamizza omutwe ng’olaba nsingo yokka, mpozzi n’engalo ezaabadde zikutte essimu.
Bino byabaddewo mu kiseera Sipiika we yabadde awummulizza Palamenti nga bateesa ku Bajeti y’eggwanga ey’omwaka gw’ebyensimbi ogujja ogwa 2023/2024.
Omubaka Mpindi bwe yabuuziddwa ku by’okuweeweetebwa teyakkirizza wadde okwegaana, wabula yagambye nti yabadde ali bbize mu lukiiko olumu n’asuubiza okutuddira oluvannyuma.
“Ndiko miitingi gye ndimu nja kukuddira oluvannyuma”. Mpindi bwe yagambye ku ssimu nga tannagiggyako.
Ye omubaka Nakabuye agambibwa okubeera mu katambi ng’aweeweeta ababaka abasajja teyafunise kubaako ky’ayogera oluvannyuma lw’okukuba enfunda eziwera ku ssimu ezimanyiddwa nga takwata.
ABANTU BANYIIVU
Eyaliko omubaka mu konsitityuwensi emu mu Kampala eyasabye amannya gasirikirwe yagambye ntiakatambi kooleka ng’eggwanga bwe liri mu buzibu.
“Okukikolera mu kisenge omuteesezebwa kiswaza nnyo abantu abaabalonda n’eggwanga n’ensi yonna. Palamenti n’ebibiina ababaka bano mwe bava balina okubabonereza olw’ekyo kye baakoze”. Eyali omubaka bwe yagambye.
Yayongeddeko nti singa kibadde mu bifo ebirala ng’ebbaala, bandibadde beetonda naye kino tekiriiko kwetonda, kyetaagisa kubabonereza.
Palamenti ennyonnyodde
CHRIS Obore, omwogezi wa Palamenti yagambye nti akatambi kalaga nti ababaka baabadde mu mbeera ya kuwujjaalako ng’olukiiko luwummuddemu. Kyokka beerabidde okutegeera nti ekifo mwe bali kya buvunaanyizibwa.
“Ekisenge omuteesezebwa kikulu nnyo era tekyetaaga kuzannyirwamu n’okulabikiramu ebikolwa by’ekika kino. Nsaba Bannayuganda baleme kukiwa nnyo budde naye n’ababaka balina okukimanya nti buvunaanyizibwa bwabwe okubeera ekyokulabirako eri be bakulembera,” Obore bwe yagambye.
Kyokka teyalambuludde oba ng’ababaka bagenda kuggulwako omusango gwonna olw’okweyisa mu mbeera etesaanidde.
ETTEEKA KYE LIGAMBA
Amateeka agafuga enteesa y’ababaka (Rules of Procedure) nnamba 175 galagira okutwala omubaka yenna abeera yeeyisizza mu mbeera etesaanidde mu kakiiko akakwasisa empisa n’amateeka aka Rules, Privileges and Discipline.
Akakiiko kano akakubirizibwa Abdu Katuntu (Bugweri) kavunaanyizibwa okunoonyereza ku nneeyisa y’ababaka etesaanidde n’oluvannyuma ne kakola lipooti gye baweereza mu Palamenti.
Ababaka bavunaanyizibwa okuteesa ku lipooti ebeera ereeteddwa akakiiko. Omubaka gwe banoonyerezaako bw’abeera ng’akkiriziganya n’ebimwogerwako olwo ababaka tebakubaganya birowoozo ku lipooti okuggyako okussa mu nkola ebiba bisembeddwa