Amawulire

Maria Gorreti Nabbuto eyazaalibwa n'ekituli ku mutima akoonodde diguli mu busawo

MARIA GORRETI Nabbuto 27 eyazaalibwa n’ekituli ku mutima ekirooto kye eky’okufuuka omusawo ajjanjabe abantu kyatuukiridde bwe yawangudde diguli nga November 20, 2021.

Maria Goretti Nabbuto eyafunye ddiguli mu busawo. Ebif. Dickson Kulumba
By: Dickson Kulumba, Journalists @New Vision

Bya Dickson Kulumba

MARIA GORRETI Nabbuto 27 eyazaalibwa n’ekituli ku mutima ekirooto kye eky’okufuuka omusawo ajjanjabe abantu kyatuukiridde bwe yawangudde diguli nga November 20, 2021.

Nabbuto yakonoodde diguli mu ssomo eriyitibwa Bachelor of Clinical Medicine & Public Health okuva mu Kampala International University era yategeezezza nga bw’agenda okukozesa obukugu bwe buno okutaasa obulamu bw’abantu ng’obubwe bwe bwataasibwa.

Ku Lwomukaaga November 27, 2021 yategese okusaba kw’okwebaza Katonda olw’obulamu ate n’okumusobozesa okukuba emisomo gye oluku mu mutwe nga kwakulembeddwamu eyaliko Omuwandiisi w’Obulabirizi bwe Namirembe, Can.Nelson Kaweesa.

Omukolo gwabadde  Kyengera -Wakiso mu maka ga Robert Ssebunya eyaliko Minisita w'ebyobulamu mu Buganda.

“Leero tuli wano okwebaza Katonda olw’okusobozesa munnaffe Nabbuto okumaliriza emisomo egy’obusawo nga kuva mu buto ayagala kubeera musawo, na bwekityo kituukiridde.,” Can. Kaweesa bwe yategeezezza.

Mu kubuulira kuno Can. Kaweesa yasabye gavumenti bulijjo okuvangayo okudduukirira abantu bayo abeesanga mu mbeera bweti eyeetaaga okuyambibwa ng’ate obusobozi butono kubanga bano babeera bantu baayo naye tewali n’ekimu kye yakola naye twebaza abantu bonna abavaayo okujuna omwana ono.

Ono yazaalibwa nga February 10,1994 kyokka n’azuulwamu ekituli ku mutima ku ntandikwa y’omwaka gwa 2000 era kaweefube w’okumusondera ensimbi n’atandika ng’ayitira ku mikutu gy’amawulire.

“Kaweefube ono yatwala emyezi ebiri nga yatambulira ku mikutu gy’amawulire okuli leediyo y’Obwakabaka, olupapula lwa Bukedde olwakola ekinene mu kusaasanya amawulire ku nsonga eno. Nga April 10, 2000 Nabbuto ne nnyina baalinya ennyonyi eyabatwala e Buyindi. Ku lwa April 13,2000 yalongoosebwa ate nga April 26,2000 n’akomawo era byonna abajjukira amawulire g’ebiseera ebyo,byalimu,” Can. Kaweesa bwe yeebazizza Bukedde.

Nabbuto ng’amaliriza okulongoosebwa,obuyambi bwebyetaago mu bulamu bwasigalawo, abantu ne basigala nga bakungibwa ku buyambi era Ku Lwokubiri May 2, 2000 amawulire ga Bukedde ne gawandiika nti Omwana Nabbuto ow’omutima bamuliisa emirundi 710 olunaku era waliwo n’ekitabo nnyina wawandiika buli lwamuwa ebyokulya bye bamulagira,asobole okuvumbavumba.

Bweyawona obulwadde bw’omutima buno, Nabbuto yasaba Katonda nti bwanafuna omukisa n’asoma ayagala afuuke musawo, ajjanjabe abalwadde b’emitima nga ye bweyali ajjanjabiddwa wamu n’okudduukiriranga abantu abali mu bwetaavu.

“Njagala nnyo waakiri mbeere omusawo nzijjanjabe ku bantu nga nze Bannayuganda bwe banzijjanjaba,” Nabbuto bwe yategeeza Bukedde eyafuluma nga July 5,2002 mu kiseera ekyo bw eyali atandise okusoma ku Lubiri Nnabagereka P/S nga yali mu P1.

ROBERT SSEBUNYA ANYUMYA KU LUGENDO LWA NABBUTO OLW’OKUSOMA

:Nabbuto yazaalibwa February 10,1994 ng’azaalibwa Resty Bakuyiira Ssonko ne George William Muteesasira kyokka olw’okusomoozebwa kweyayitamu mu buto, yasigala ne nnyina eyalwana okulaba ng’ataasa obulamu bwe.

Kaweefube w’okulongoosa Nabbuto, Robert Ssebunya eyali Minisita wa Kabaka ow’ebyobulamu mu kiseera ekyo yamuli wakati ng’ono yatuukirira ebitongole bingi omwali n’aba Uganda Heart Institute,okujjanjaba omwana.

Ng’okulongoosebwa kuwedde,ekyajja mu bwongo bwa Ssebunya mu kiseera ekyo eyali atutte Nabbuto okubeera ewuwe, y’engeri gyanaasomamu.

“Natuukirira munnange eyali Minisita w’ebyenjgiriza mu Buganda, Dr. JC Muyingo ne musaba bbasale omwana atandike okusoma mu ssomero lya Kabaka Lubiri Nnaabagereka n’antegeeza nti waakusasulirwako ekitundu ate nange nsasule ezisigaddeyo.

Bwe yamaliriza Pulayimale ne nzirayo ewa Dr. Muyingo era n’akkiriza bbasale ey’ekitundu mu Lubiri High School,”Ssebunya bwe yategezezza.

Okuyingira Yunivasite weewaali kalumanywera nga Ssebunya yategeezezza nga bwe yatuukirira Dr. Muyingo n’amusindika mu nteekateeka ya gavumenti eya fiizi eziwolebwa, oli n’asasula oluvannyuma ng’atandise okukola.

“Natuukirira omukulu akulira enteekateeka ne munnyonnyola ne tuteekayo okusaba kwaffe wabula okusunsula kugenda okugwa nga tebatuwadde. Neesitula ne nzirayo ne nkuba amavi wansi ne mugamba nti omwana oyo munaku talina buyambi. Oluvannyuma lw’okumunnyonnyola byonna ebimukwatako,bakkiriza ne batuwa sikaala eyo,” Ssebunya bwe yanyumiza.

Bukedde Eyafuluma Nga July 5,2002 Yalaga Ekirooto Kya Maria Gorreti Nabbuto Eyazaalibwa N'ekituli Ku Mutima Nga Yeegomba Okusoma Era Afuuke Omusawo.

Bukedde Eyafuluma Nga July 5,2002 Yalaga Ekirooto Kya Maria Gorreti Nabbuto Eyazaalibwa N'ekituli Ku Mutima Nga Yeegomba Okusoma Era Afuuke Omusawo.

Maria Gorreti Nabbuto (owookubiri Ku Kkono) Ng'asala Kkeeki . Ku Ddyo Ye Robert Ssebunya Addiriddwa Muky. Resty Ssonko, Nnyina.

Maria Gorreti Nabbuto (owookubiri Ku Kkono) Ng'asala Kkeeki . Ku Ddyo Ye Robert Ssebunya Addiriddwa Muky. Resty Ssonko, Nnyina.

Kkeeki Ya Nabbuto.

Kkeeki Ya Nabbuto.

Maria Gorreti Nabbuto Ng'akwasa Nnyina Resty Ssonko Ekirabo Ekimwebaza Olwa Byonna By'amukoledde.

Maria Gorreti Nabbuto Ng'akwasa Nnyina Resty Ssonko Ekirabo Ekimwebaza Olwa Byonna By'amukoledde.

Ssebunya yategeezezza mu kiseera kino banoonya mulimu, Nabbuto atandike okukola kubanga balina okusasula ebbanja lya gavumenti lino ng’ate ye yalyeyimirira.

Yasabye aba Uganda Heart Institute okuwa Nabbuto omulimu nga mudda alisomera ddala n’obujjanjabi bw’emitima bwe yayagalira ddala.

Ye Polof. Francis Omaswa omu ku basawo abaatandika okujjanjaba Nabbuto mu buto era omu ku bali ku lukiiko lwa Uganda Heart Institute yategezezza nga bwebajja okufuba okulaba nga yeegatta ku kitongole kino kubanga balina abakozi abalala abaayita mu kulongoosebwa mu ddwaaliro lino ng’era bakozi.

NNYINA AMUSIBIDDE ENTANDA

:Maama wa Nabbuto yamusabye obutabeera na mutima gw’okweraga eri abalwadde kubanga naawe abasawo be natuukiriranga tewali yankaluubirizanga era bampuwulirizanga okutuusa lwe wajjanjabwa n’awona.

Mukyala Ssonko yamusabye n’okuwanga abalwadde obudde okumunnyonnyolanga ebyo ebibaluma kubanga embeera bweti ekola kinene mu kuwona kw’abalwadde.

“Nneebaza bonna ababaddewo mu bulamu bwa Nabbuto,bonna abaliko kyebakola mu kutoola n’obuwabuzi okulaba ng’omwana ono atuuka wano leero. Katonda nsaba abongere emikisa,” Muky. Ssonko bwe yategeezezza.

Tags:
Maria Gorreti Nabbuto
musawo