Barak Orland ayagala kutwala ttiimu ya ddigi mu mpaka z’ensi yonna

NANNYINI kisaawe ekivugirwamu ddigi n’emmotoka z’empaka ekya Uganda Motorsport Arena Busiika Barak Orland y’omu ku bantu abatumbudde ennyo omuzannyo gw’emmotoka ne ddigi z’empaka wano mu ggwanga.

Barak Orland ayagala kutwala ttiimu ya ddigi mu mpaka z’ensi yonna
By Olivia Nakate
Journalists @New Vision
#Ebyemizannyo

Barak Orland muvuzi wa ddigi z’empaka nga n’abaana be okuli Aviv Orland, Stav Orland ne Alon Orland bonna bagoberedde ebvigere by'aba kitaabwe.

Barak agamba nti essanyu lye kwe kulaba nga abaana bano bavuga mu mpaka eza maanyi.
Ekirooto kya Barak kyakutwala ttiimu ya Uganda mu mpaka z’ensi yonna ez'omuzannyo gwa Ddigi z’empaka eza FIM Motocross World Championship.

Orlando ng'annyonnyola

Orlando ng'annyonnyola


“Bwenditwala ttiimu ya ddigi mu mpaka z’ensi yonna nja kuba mumativu nnyo n’ebyo bye ntuseeko.
Barak omuzannyo agumazeemu emyaka egisukka 20 nga mu 2010 ye ne mukyala we Evas Orland baasalawo okussaawo ekisaawe ekivugirwamu emmotoka ne ddigi z’empaka ekya Uganda Motorsport Arena e Busiika nga kitudde ku yiika ezisukka mu 50.

Omuvuzi wa ddigi ng'agibuusa waggulu

Omuvuzi wa ddigi ng'agibuusa waggulu


Ng’oggyeeko mmotoka ne ddigi z’empaka, ekisaawe ky’e Busiika kiriko n’ebisaawe by’emizannyo ebirala okuli omupiira, Volleyball, Basketball, okubaka n’okuwuga nga kuliko n’ebisulo ebisobozesa ttiimu ez’enjawulo okukubayo enkambi nga zeetegekera empaka ez’enjawulo.