Ssaabasumba Ssemogerere asabye abasawo okujjanjaba abalwadde n'okwagala

Feb 11, 2022

SSAABASUMBA w’essaza Ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere,  asabye abasawo bulijjo okuteeka ennyo omwoyo ku balwadde, babajjanjabe n’okwagala wamu n’okufaayo, n’okukulembeza ensonga y’okutaasa obulamu bw’abantu okusinga ekirala kyonna.

Ssaabasumba Ssemogerere asabye abasawo okujjanjaba abalwadde n'okwagala

Vivien Nakitende
Journalist @Bukedde

Abadde akulembeddemu Mmisa y’okujjukira olunaku lw’abalwadade olwa 30 mu nsi yonna,  ku mikolo egibadde mu kifo awasimba mmotoka eky’eddwaaliro ly’e Lubaga.

 

Akuutidde abasawo okussaayo ennyo  omwoyo nga bajjajnjaba abantu  n’okwewaayo  nga bakola omulimu gw’okuwonya kubanga buli bwe bawonya mukama abawa omukisa.

Ssaabasumba Ssemogerere ng'akulembeddemu Mmisa.

Ssaabasumba Ssemogerere ng'akulembeddemu Mmisa.

Ssaabasumba asiimye omulimu abasawo gwe bakola, ne yeebaza abasawo abeewaayo okujjanjaba abantu mu biseera ebizibu eby’ekirwadde kya Ssenyiga omukambwe Covid-19.

Asabye abasawo abasawo bonna abaafiirwa obulamu nga bajjanjaba Covid-19 bafuulibwe bazira kubanga baasaddaaka obulamu bwabwe okuwonya abalala.

Abamu ku Bakristu abaabadde mu kusaba kuno

Abamu ku Bakristu abaabadde mu kusaba kuno

Okusaba kwategekeddwa eddwaaliro ly’e Lubaga nga kwetabiddwaako abantu ab’enjawulo okubadde omubaka wa Lubaga South Aloysius Mukasa Talton Gold, eyeebazizza ennyo omulimu abasawo gwe bakola okutaasa obulamu n’asaba abantu okuwa abasawo ekitiibwa ate n’abasawo okuwa abalwadde ekitiibwa, emirimu gitambule bulungi.

Abakristu nga batona ebirabo

Abakristu nga batona ebirabo

Comments

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});