Nga ayita ku mikutu gy'okumutimbagano gye buvudeko yalangiridde nga bw'agenda okuta olutambi (Album) olupya.
Luno ya lutuumye 'Kampala Boy' era mu kwogerako naffe yatutegeezezza nti ayagala nnyo ekibuga Kampala olw'ensonga mw'akulidde era kye kimufudde kyaali kati.
Olutambi luno lwakufuluma nga 10 December omwaka guno.
Fik Fameika, Navio, Apass, Shina Skies ,Kemishan be bamu ku bayimbi abalala be yakoze nabo ennyimba (collabo) ku lutambi lwa Kampala Boy.
Flex D'Paper yeegasse ku bayimbi ba Hip Hop abalala nga; Navio ne GNL nga bano bazze bafulumya ennyimba mu engeri eno.(Album).