• Jun 07, 2021 . 1 min Read
  • Lord Bendtner kyaddaaki annyuse omupiira

Lord Bendtner akitadde
NewVision Reporter
Journalist @NewVision

Bya Wilson W. Ssemmanda

Omuteebi ono era abadde azannya ne ku ttiimu y’eggwanga lye eya Denmark  yeegatta ku Arsenal mu 2004 kyokka n’atwalibwa ku bwazike omwali okugenda mu kiraabu y’e Yitale eya Juventus. Bwe yava ku Arsenal yeegatta ku Vfl Wolfsburg ey’e Bugirimaani ku bwereere. Yadda e Bungereza ku ndagaano ennyimpi mu kiraabu ya Nottingham Forest.

Yasembayo okwegatta ku kiraabu omuli Rosenberg ne Copenhagen FC n’asembyayo okwegatta ku Tårnby FF’s mu liigi y’e Denmark.

Bendtner ateebye ggoolo 113 mu myaka 15 gye yasambiramu omupiira. Mu bbanga ery’emyaka 12 Bendtner lye yazannyira eggwanga lye erya Denmark yazannya emipiira 81 n’ateeba ggoolo 30.

Bendtner abawagizi b’omupiira gwe baali baakazaako erya “Lord Bendtner”. Yagambye nti okutuuka okusalawo okulekulira omupiira kimukaluubiridde nnyo kyokka n’asalawo alekulire olwo anoonyeeyo ebirala ebinaamubeesabeesa ng’amupiira bwe gumubeereddewo.

ADVERTISEMENT

Related Articles
(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});