Engeri y'okuziyiza ssennyiga n'ekifuba mu baana abasoma

Jun 07, 2020

Embeera nga bw’eyimiridde, omwana alina ssennyiga oba ekifuba yandyekanga ng’abasomesa bamulagidde okusigala awaka okutuusa lw’aliwona ate akomewo nga bamukebedde ssennyiga omukambwe.

Dr. Monica Musenero omuwabuzi wa Pulezidenti ku byobulamu ategeezezza nti waliwo akakiiko akaateekebwawo okukubaganya ebirowoozo okulaba amasomero bwe ganaatambuzibwamu ssinga gaggulawo nga ssennyiga omukambwe akyaluma abantu mu ggwanga n'ensi yonna.

Yagambye nti waliwo ebintu ebyetaaga okukyusibwa mu masomero naddala mu nneeyisa y'abayizi:

1Bayige embuuza empya eriwo kati. Tewakyali kugwa muntu mu kifuba wadde okubakwata mu ngalo ne bw'aba mukwano gwo. Balina okuyiga enneeyisa empya eya ssaayansi etangira ssennyiga okusaasaana.

2 Obutagabana bintu. Abaana balina omuze gw'okugabana ebintu; okugeza olugoye lw'ayambadde leero olusanga na mukwano gwe enkeera. Mu kiseera kino balina okuyiga okukozesa ekitono kye balina okusobola okwerinda ssennyiga omukambwe.

3 Tunnyikize enkola ya "tonsemberera" mu baana. Mu kiseera kino ng'abaana bakyali awaka tandika okubayigiriza enkola ya ‘tonsemberera' batuuke okudda ku ssomero nga bamanyi eky'okukola.

4 Okwambala masiki. Kiziyinza okusaasaanya ssennyiga naddala ng'oyasimudde era mu kiseera kino nga twetegekera okuzza abaana mu masomero, mubayigirize okwambala masiki n'okuzirabirira bagende okutuuka ku ssomero nga baazimanyiira.

5 Okunaaba mu ngalo. Okunaaba mu ngalo kutangira endwadde nnyingi nga ne ssennyiga mw'omutwalidde y'ensonga lwaki abaana balina okunaaba mu ngalo buli kadde.

6 Okusibirira abaana ebyokulya ebyongera obwerinzi mu mubiri. Bino byongera mu baserikale b'omubiri amaanyi ekibasobozesa okulwanyisa endwadde endala. Ate abazadde abasobola tubakubiriza okusibirira abaana ebyokulya ebyongera ebiriisa mu mmere y'abaana bammwe nga ekipooli, omuzigo n'ebirala naddala abali mu bisulo.

7 Okwota ku musana. Awaka ne ku ssomero, abaana tubateerewo obudde obw'okwota ku musana okumala essaawa emu mu lunaku kubanga mulimu ekiriisa kya vitamiini D ekigumya obwerinzi bw'omubiri ne kigusobozesa okwerwanako ng'obuwuka bugulumbye.

8 Ebibiina ebisoboka, bisomere wabweru. Okubeera mu bizimbe ebiggale kye kimu ku bisaasaanya obulwadde. Mu mbeera eno, waliwo ebibiina ebimu bye tusobola okutuula n'abaana wabweru ng'enkuba tetonnya kuba kiyamba okuziyiza obulwadde okusaasaana.

9 Dduyiro. Twongere okukozesa abaana dduyiro kubanga amasomero agasinga gakuumira nnyo abaana mu bibiina. Dduyiro ayamba okwongera abaserikale b'omubiri amaanyi ekibasobozesa okulwanyisa abalabe ababa balumbye omubiri.

10 Okulima enva endiirwa ku masomero n'awaka. Enva endiirwa ddagala erisobola okugema omwana endwadde eziwerako.

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});