Abazigu basse omwana ne nnyina lwa mitwalo 5

Jun 20, 2009

ABAZIGU batemyetemye omwana ne nnyina ne babattirawo nga kiteeberezebwa nti baabadde bazze kubba emitwalo etaano omwana ze yabadde aleetedde nnyina.

Bya Luke Kagiri

ABAZIGU batemyetemye omwana ne nnyina ne babattirawo nga kiteeberezebwa nti baabadde bazze kubba emitwalo etaano omwana ze yabadde aleetedde nnyina.

Abatuuze ku kyalo Mawonvu ekiri mu ggombolola y’e Busimbi mu disitulikiti y’e Mityana, baafunye entiisa bwe baasanze emirambo gya mutuuze munnaabwe nnamwandu Nantongo, 60 ne mutabani we Tende Kayemba, 30 nga giri mu bitaba bya musaayi.

Kayemba yabadde akyalidde nnyina n’amuwa 50,000/-. Kirowoozebwa nti waliwo eyatemezza ku bazigu nti mutabani akyadde ne balowooza nti omuvubuka ono yabadde azze ne ssente nnyingi.

Kayemba yasoose kuyitako mu bbaala n’abavubuka b’oku kyalo be yakula nabo n’abagulira omwenge. Omu ku bavubuka Ntonio Kizito gwe yabadde naye yamwegayiridde bagende bombi basule ewa nnyina wa Kayemba ng’agamba nti obudde bwabadde buzibye nnyo nga tayinza kudda wuwe.

Kizito ne Kayemba baagenze ne bakonkona Nnamwandu Nantongo n’abaggulira era n’abaalira ne beebaka. Kayemba yasuze mu kisenge ekimu, Nantongo n’asula mu kirala ate Kizito ne bamwalira mu ddiiro.

Mu ttumbi, abazigu baakubye ekituli mu nnyumba ne bayingira ne batemaatema nnamukadde ne babba 50,000/- gye baabadde bamuwadde ate bwe baamalirizza ne balumba mutabani we Kayemba mu kisenge ekirala naye ne bamutemaatema ne bamutta.

Ekyewuunyisizza poliisi kwe kutuuka mu nnyumba abantu mwe baabasanjagidde n’esanga Kizito ng’ali mu ddiiro afuluuta. Poliisi yakutte Kizito okuyambako mu kubuuliriza.

Emirambo gy’abagenzi poliisi yagitutte mu ddwaaliro e Mityana okwekebejjebwa oluvannyuma ne giggyibwayo ne giziikibwa.

Poliisi era yakutte Hussein Kisekka muzzukulu wa Nantongo oluvannyuma lw’abatuuze okugitegeeza nti wabaddewo obutakkaanya wakati wa Nantongo ne Kisekka ng’entabwe eva ku nkaayana z’ettaka.

Omuduumizi wa poliisi mu disitulikiti y’e Mityana, Ben Mubangizi yagambye nti bakyanoonyereza abasse omwana ne nnyina.

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});