TOP
  • Home
  • Archive
  • Akulira abeekalakaasi ewa Kisekka alinga nnawolovu

Akulira abeekalakaasi ewa Kisekka alinga nnawolovu

By Vision Reporter

Added 20th June 2009 03:00 AM

OMUSAJJA aduumira abeekalakaasi mu katale ewa Kisekka bw’omulaba akasukira abaserikale envuumuulo n’okubakuba butida kyangu okulowooza nti muyaaye ekintu ky’atali.

Bya Robert Mutebi ne Joseph Mutebi

OMUSAJJA aduumira abeekalakaasi mu katale ewa Kisekka bw’omulaba akasukira abaserikale envuumuulo n’okubakuba butida kyangu okulowooza nti muyaaye ekintu ky’atali.

Patrick Engimu musajja wa buvunaanyizibwa alina bizinensi gy’addukanya kyokka ng’alina ekibinja ky’abasuubuzi ky’atendeka okucanga butida n’okukuba envuumuulo ng’akamu ku bukodyo bw’okwekuuma okutaasa akatale kaabwe kaleme kuweebwa bantu balala.

Abasuubuzi baamukazaako lya ‘Rasta’ olw’endabika y’enviiri ze era okwekalakaasa bwe kutandika, essuubi abasinga liba mu musajja ono okukola ku ntegeka y’okwang’anga ababa babalumbye ng’abawa emiggo, amayinja n’envuumuulo.

Ebiragiro bye babigondera. Bw’aba tannabalagira nti “Take cover” tewaba yeekweka okutuusa lw’akikola olwo bonna ne beekukuma. Okumanya bamukkirizaamu, Poliisi ne bwekuba omukka gwayo ogubalalagala nga tannabalagira kwekukuma, tebakikola.

Buli lwe wabaawo okwekalakaasa Rasta aba ku mwanjo kyokka ng’ekyewuunyisa alabikira ddala ng’aba yazze yeetegese olw’ennyambala gy’abaamu. Ennyambala ye buli kwekalakaasa lwe kubaayo eraga nti ajja ayambadde mu ngeri ey’olutalo lwennyini.

Wabula Engimu mu biseera ebitali bya kwekalakaasa, asiiba akakkalabya mirimu gye egy’okutunga ekyalaani mu katale. Akolera kumpi ddala n’ekifo w’abangulira banne ku ngeri y’okwekakalakaasaamu.

Engimu mutuuze w’e Kasubi era mufumbo wadde mukaziwe Angella Atim yamuleka Apac gy’azaalwa. Alina abaana babiri era agamba nti ssente ezibaweerera aziggya mu katale era eno y’ensonga emuwaliriza okulwana okwekutula kaleme kutwalibwa bantu balala.

Musajja muyivu, agamba nti omulimu gwe yagusomerera mu ttendekero ly’okutunga e Nairobi erya Global Institute Of Art & Design mwe yafuna n’ebbaluwa ya dipulooma.

“Simanyi bantu kye bandowoolereza, naye ekituufu ndi musuubuzi mu katale kano era nninamu ebyalaani byange. Akatale nakayingiramu mu 1994,” Engimu bwe yategeezezza.

Akulira abeekalakaasi ewa Kisekka alinga nnawolovu

Related Articles

More From The Author

Related articles