Amawulire

Kkooti eragidde ku by'obugagga by’abagenzi bannannyini Muyenga High

KKOOTI esazeewo ku by’obugagga by’abagenzi Canan Nanfuka ne bba Wamala Atwoki ab’e Muyenga n’eragira ababirimu babiveemu.

Essomero lya Muyenga High Day and Boarding School ebimu ku by’obugagga by’omugenzi Nanfuka (ku kkono.)
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Bya Edward Luyimbaazi

KKOOTI esazeewo ku by’obugagga by’abagenzi Canan Nanfuka ne bba Wamala Atwoki ab’e Muyenga n’eragira ababirimu babiveemu.

Munnamateeka Janet Namuddu Katende, Ignatius Miwanda ne bannaabwe bwe babadde mu by’obugagga bino, kkooti ebalagidde babiveemu mu myezi esatu bwe kibalema babaggyemu ku kifuba.

Ekiragiro kyaweereddwa Omulamuzi Suzanne Anyala Okeny omumyuka w’omuwandiisi owa kkooti y’amaka e Makindye nga May 24, 2023 n’alagira batandikirewo okubala ebbanga ery’emyezi esatu gye yalagidde.

Kiddiridde Abalamuzi ba kkooti ejulirwamu nga bakulembeddwa omumyuka wa Ssaabalamuzi, Richard Buteera okugoba okujulira kwe baateekayo mwe baawakanyiza
eby’okugobebwa mu bintu bino ebiri mu buwumbi obusoba mu 20.

Nanfuka ow’e Muyenga ye yali nnannyini ssomero lya Muyenga High eyafa mu 2016 nga talese mwana.

Ebyobugagga mulimu amasomero; Muyenga High ne St. Barnabus, erisangibwa ku Kyadondo Block 244 Plot 4648, 4729, 4732, 4730 ne 5074 wamu n’amaka ga Nanfuka ne Wamala ne muwala waabwe Viviane Wamala mwe baaziikibwa e Muyenga - Kisugu.

Omulamuzi Anyala okuwa ebiragiro bino, Lucky Henry Kalule ne banne be baateekayo okusaba oluvannyuma lw’okuwangula omusango gwe baawawaabira Miwanda, Namuddu ne bannaabwe bwe baali bezza ebyobugagga bino.

Okuwa ekiragiro kino, Anyala yasinzidde ku nsala y’Omulamuzi David Matovu eyaliwo nga October 30, 2020 eyagamba nti enkyukakyuka ezaakolebwa Miwanda ne
banne ku by’obugagga by’omugenzi Nanfuka zaali za kifere nga birina okukyusibwa. Yabawadde okutuusa August 24, 2023 nga babivuddemu.

Miwanda ne banne nga bayita mu munnamateeka waabwe, Rashid Kibuuka baajulira nga bawawaabira abooluganda lwa Nanfuka okuli Lucky Henry Kalule, Charles Lwanga ne Lillian Nanfuka Kagimu abaali baabawangula mu kkooti y’Omulamuzi Matovu.

Mu nsala yaabwe abalamuzi ba kkooti ejulirwamu nga bakulembeddwa Omulamuzi Buteera; Catherine Bamugemereire ne Stephen Musota baagamba nti Miwanda ne
banne okutegeeza kkooti nga bwe bagenda okujulira kwe baateekayo nga October, 26, 2020 mu ggwandiisizo lya kkooti enkulu kwaggyibwayo omuntu ataategeerekeka, bwe
kityo tekwateekebwayo mu kkooti eno ne be bawakanya tebaabawa mpapula zikakasa nti bajulidde mu budde obulambikiddwa mu mateeka.

Baayongera ne bategeeza nti n’okumanyisa kw’okujulira Miwanda ne banne kwe baateekayo nga November 18, 2020 baakuteekayo ng’obudde buyise okusinziira ku
mateeka.

Okujulira okw’emirundi ebiri, Miwanda ne banne kwe baateekayo tebaalaga kiki kye baali bawakanya mu nsala eyali ekoleddwa mu kkooti enkulu.

Abalamuzi bano baagamba nti okujulira Miwanda kwe baateekayo nga October 26,
2020 ne bakuwa abawawaabirwa, omuwandiisi wa kkooti enkulu teyakuteekako mukono wadde okuteekebwako sitampu ya kkooti eno.

Abalamuzi bano baalagira Miwanda ne banne okusasula abantu be baawawaabira n’okusaba kw’oludda oluwawaabirwa kwe baali baateekayo nga basaba
okujulira kuno kuggyibwewo ne kukkirizibwa.

Tags:
kkooti
eragidde
by'obugagga
bagenzi
Muyenga High