KYUSAAMU mu nfumba y’ebinyeebwa, oyongere okubiwoomerwa. Zulaika Kyolaba, omufumbi w’emmere okuva e Ntebe Kitooro, agamba nti enva z’ekinyeebwa, osobola okuzisiikako ng’otaddemu ka butto katono, n’okireka ne kitokota okutuusa lwe kiggya ne kyongera okukuwoomera.
Ekinyeebwa ekiboobedde obulungi ekisaana okuliibwa.
EMITENDERA
1. Funa ebinyeebwa ebinyige oba ebisekule ekipimo ekinaamala b’ofumbira. Ebinyige, bisse mu mazzi agookya obitabule byete bulungi.
l Salaasala obutungulu.
l Funa ennyaanya. Bw’oba ogenda kufumba kkiro ey’ebinyeebwa, funa ennyaanya ennene bbiri oziwaateko ekikuta oluvannyuma ozisaalesaale.
l Teeka butto mu sseppiki acamuke olwo osseemu obutungulu buggye naye tobumyusa nnyo.
l Ssaamu ennyaanya, osaanikireko obusikonda nga bubwo oluvannyuma otandike okuzisotta zijerebere bulungi.
l Ssaamu Royco. Bw’oba tomulina saamu akanzaali k’otera okukozesa naye ossaamu katonotono.
2. Yiwamu ebinyeebwa. Bw’olaba amazzi ge wabitabuzza tegamala, yongeramu naye nga gookya.
l Mu ddakiika 10 ezisooka ng’omaze okubiteekamu, olina okusigala ng’obitabulamu era nga biri ku muliro mutono, bireme kusiriira.
Kendeeza omuliro mpolampola nga bwe biggya
l Biggyira mu ssaawa emu n’okusingawo ku muliro omusaamusaamu.
Bw’olaba biyidde, biggyeeko ku muliro nga bikyatokota obisse wansi osseemu omunnyo byekwate obulungi olwo ogabule abantu bo.