Ebyetaagisa
- Eng'ano
- Amata
- Sukaali
- Omunnyo
- Amagi
- Siyaagi w’emigaati
- Yeast
- Baking powder
- Enkoko enzise
- Obutungulu
- Ennyaanya
- Kaloti
- Katunguluccumu
- Kawo
BULI awoomerwa enkoko, buli kyakulya ekikolebwamu kyandimuwoomera. ‘Chicken pie’, kye kimu ku byokulya ebikolebwamu era tekitaliza mukulu na muto mu kugiwoomerwa. Abamu okulya ku ‘chicken pie’, bazirumba mu bifo ebisanyukirwamu ne batamanya nti nabo basobola okuzeekolera awaka.
Omufumbi Innocent Kahigwa akuwa emitendera gy’olina okuyitamu ng’okola chicken pie. Agamba nti;
l. Ofuna engano n’opima gulaamu nga 500. Enghano kye kimu ku birungo ebikulu mu kukola ‘chicken pie’. Bw’omala okugipima ogiteeka w’ogenda okukandira gamba ng’akataasa akayonjo obulungi.
2. Ogattamu sukaali. Sukaali ono ayamba okuwoomesa eng'ano.
3. Gattamu omunnyo, guyamba okukkakkanya ku musinde ‘yeast gw’asobola okukozesa okumala sukaali mu byokulya.
4. Kubiramu eggi nga limu nga lino liyamba ehhano okuzimba obulungi, okugonda n’okukola langi esikiriza nga ziyidde. Langi ennungi yeeyo eya kitaka, ehhano gy’ekola ng’efumbiddwa n’eggya ate n’etesiriira.
5. Gattamu omuzigo gwa siyaagi asiigibwa ku migaati. Opima ejjiiko emu ng’eno eyamba okuwa by’ofumba akawoowo n’eddekende.
6. Gattamu ‘yeast’ mutono ddala era opima akatundu ka kajiiko, yeast ayamba okuzimbyazimbyamu eng'ano yo ate ng’ekyali ngumu nga teriimu mukka mungi. Yeast ono era ayamba okuwa engano amaanyi.
7. Ogattamu akatundu ka kajiiko aka baking powder, azimbya engano.
8. Engano gitabuze amata okusinziira ku gamala era bw’oba ogalina kirungi n’otokozesa mazzi olw’okwagala okuggyayo ekyokulya kyo nga kirungi bulungi.
9. Tandika okukanda engano, osobola okukozesa emikono oba akuuma akatabula bw’oba okalina.
10. Kwata engano eno ogiteeke mu kaveera ogisse ebbali era erina okumala ebbanga lya ssaawa nga bbiri.
11. Tokosa enkoko yo naye togirwisa ku muliro kujeberera. Obeera ogenderera kugibugumyako katono.
l2. Olutokotamu katono giteeke mu ssepiki okalangemuko katono. Olaba etandise okukala, yiwamu ku ka butto katono. Kirungi bw’okozesa butto wa olive oil oba corn oil.
l3. Ssaamu katunguluccumu awa ebyokulya byo akawoowo. Ssaamu akatungulu, ozzeemu kaloti. Ssaamu kawo nga si mungi era bw’oba tomulina, tekikosa nnyo. Ssaamu ennyaanya z’okubye mu bulenda
l4. Mansaamu royco. Tomutabula mu mazzi, muteekemu nga wa buwunga. Ssaamu ku tunnyo enkoko esobole okuwooma.
l5. Bw’oba olina Blackpaper naye mugattemu. Giweemu eddakiika nga 10 ku muliro nga bw’eggya nga n’ebirungo bwe byetabulatabula.
l6. Ggyayo engano ogizinge nga bw’ossaamu enkoko.
l7. Teeka mu ‘oven’ ku diguli 150 ez’omuliro okumala eddakiika 20, bijja kuba biyidde okugabula abantu bo.